Musasi waffe
Robert Kyagulanyi Ssentamu, omubaka akiikirira Kyaddondo East mu palamenti olwaleero atonedde Abataka Abakulu Ab’obusolya ettu lya Eid.
Bwabadde aleese ettu lino ku Bulange e Mmengo omubadde amatooke n’enkoko, Kyagulanyi ayagala okwesimba ku pulezidenti Museveni okuvuganya ku ntebe y’obukulembeze bweggwanga, yagambye nti balowoozezza ku Bataka mu mbeera eno eyakazigizigi nga buli muntu ali kululwe.
“Bajjajjaffe Abataka Abakulu Ab’obusolya ani abalowoozaako? Kano kabonero tusazeewo tukakole bakimanye nti batubeera ku mwoyo. Tubalowoozaako era tubaagala era tusaba bonna abazzukulu ba Buganda gyebali nti bajjaja bwe babeerayo nga bakakakkalabye emirimu, ffetulina okubalabirira era tusaba Mukama abatukuumire,” Kyagulanyi bweyagambye.
Ono era yategeezezza nti omuntu atamanyi gyava aba tamanyi gyagenda era abanga omuti ogutalina mirandira.
“Nzize ne mutabani wange ob’olyawo naye anaayiga nti tuli Baganda abalina bajjajja abatulungamya,” Kyagulanyi bweyagambye.
Ono era yayagalizza Abasiraamu Eid ennungi egenda okukuzibwa enkya oluvanyuma lw’okumalako ekisiibo.