![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/02/Ndeeba.jpg)
Bya URN
Bannakisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power, bagambye bandiwalirizibwa okubaako kyebakolawo singa poliisi terekeraawo kulinyirira ddembe lyabwe ng’ebalemesa okukuba enkungaana z’okwebuuza ku bantu.
Bano abakulemberwa Robert Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine, baagala kutalaaga ggwanga nga beebuuza ku bantu oba omuntu waabwe yeesimbawo ku bwa pulezidneti oba nedda.
Omwogezi wabano, Joel Ssenyonyi, yagambye nti newankubadde ng’akakiiko
akakola ku by’okulonda kaabakkiriza okwebuuza ku bantu, poliisi kino
ekyakiremesezza nga n’ogusembyeyo yabadde ggulo bwebaalemeseddwa okukuba olukungaana
ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba.
Bano poliisi yabagambye nti baabadde balemereddwa okutuukiriza obukwakkulizo bonna nga webulambikiddwa mu tteeka erifuuga enkungaana.
Ssenyonyi agamba okusinziira ku kyebaalabye mu Ndeeba, eno eyinza okuba nga yeegenda okuba enkola ya poliisi.
Yagambye nti kino kigenda kubawaliriza okusala amagezi
amalala agali mateeka okulaba nga bagenda mu maaso n’enkugaana zaabwe.
Omwaka oguwedde Bobi yalangirira nti yali waakwesimbawo okuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga, n’gamba nti wakutambula eggwanga lyonna ng’asisinkana abantu.
Yawandiikira akakiiko k’ebyokulonda nako akamukkiriza okugenda mu maaso yeebuuze nga bwekirambikiddwa mu tteeka erifuga okulonda kwa pulezidenti.
Amyuka omwogezi wa poliisi
Polly Namaye yagambye baasabye Bobi olukangaga lw’ebintu kkumi byalina okusooka
okutuukiriza nga poliisi tennamukkiriza kukuba enkiiko wabula nga kino kyamulemye
okukola.