
Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu atabukidde mutabani wa Pulezidenti Museveni era omudduumizi w’eggye ly’oku ttaka erya UPDF, Lt Gen Muhoozi Kainerugaba namusaba akomye okutwala Uganda ng’ekimu ku by’obugagga bya kitaawe kyalindiridde okusikira.
Kyagulanyi obubaka abutabukira Muhoozi abutadde ku mukutu gwe ogwa Twitter bw’abadde addamu Muhoozi ku Katuni eyakubiddwa nga Kyagulanyi ne Muhoozi bagezaako okwepima mu ngatto za Pulezidenti Museveni okusobola okulembera eggwanga.
“Siri muganda wo era sivuganya naawe ku ngatto za kitaawo. Olina omugabo munene ku ngatto za kitaawo, ente ze era osobola nokusikira enkofiira ye. Ensobi gyokola eri emu kulowooza nti Uganda yemu ku by’obugagga bya kitaawo by’olina okusikira,” Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Abatunuulizi b’ensonga nga basinziira ku bubaka Muhoozi bwe yatadde ku mutimbagano bagamba nti mu kiseera kino Muhoozi alaba Kyagulanyi nga asobola okuvuganya naye amulemese entebe ennene.
Kinajjukirwa nti Muhoozi n’abamu ku bawagizi be babadde batambuza obubaga bwe obw’ amazaalibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo wamu n’okutegeeza nga bwebamuleeta okusikira kitaawe Gen Museveni ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2026.
Era Munnamateeka Gawaya Tegulle yaddukidde mu kkooti etaputa Ssemateeka nagisaba ekome ku Muhoozi okutambuza obubaga bw’amazaalibwa mu bitundu by’eggwanga awamu n’okuzannya eby’obufuzi ebyawula bannansi nga akyali mu magye.









