Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, asemberedde okulabikira ku kakonge ka banaavuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu kalulu ka bonna aka 2021.
Kino kiddiridde erinnya lye okulabikira ku lukalala lw’abantu abasunsuddwa olunaku lwaleero ku Lwokusatu.
Okusinziira ku kiwandiiko kino ekifulumiziddwa omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda,Paul Bukenya, beekennenyezza emikono gya Kyagulanyi n’abalala 10 gye baawaayo nebakizuula nga tegiriimu nsobi era bwe batyo ne bakakasibwa.
Bobi Wine kati yeegasse ku balala abaasooka okukakasibwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga nga ku bano kuliko; Munna NRM Yoweri Museveni, Henry Tumukunde, Nancy Linda Nakalembe ne Fred Mwesigye nga bano tebalina kibiina.
Abalala ye Willy Mayambala, Joseph Kabuleta, John Kalumba ne munna FDC Patrick Obi Amuriat.
Bano bonna baweereddwa ssatifikeeti eziraga nti baafuna emikono egyali gyetaagibwa mu mateeka nga gino gye bajja okuwa omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda bwe banaaba beewandiisa Ssabbiiti ejja.
Etteeka erirambika abeesimbawo ku bwapulezidenti erya ‘Presidential Elections Act,’ liragira omuntu yenna eyeewandiisa okusooka okukung’aanya emikono egimusemba gy’abantu 100 abalonzi okuva mu Disitulikiti 98.
Eby’okusunsulwa kwa Bobi Wine, bisanze akakiiko k’ebyokulonda kaakamala okufulumya ebiragiro eri abeesimbyewo ku bwapulezidenti obutagenda mu kifo we balina kwewandiisiza n’abantu basukka 10 ng’omu ku kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Okuggumiza kino, Poliisi erabudde okukwata omuntu yenna anaagezaako okuyisa ebivvulu ng’ava okwewandiisa bamuvunaane.