Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine, asanyukidde ekya gavumenti ya Amerika okuteeka envumbo ku ntambula z’abanene abamu mu Uganda olw’okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Kyagulanyi agamba nti kisaanidde abakulu abamu okusasulira ebikolwa byabwe naddala ku ngeri gye baakwatamu akalulu akawedde.
“Ekiwandiiko kya Amerika kikakasa nti okulonda okwawedde tekwali kwa mazima nabwenkanya. Kizzaamu amaanyi kuba kiraga nti wadde Pulezidenti Museveni yezza ebitongole byonna ebyandimugambyeko naye ensi eraba era etandise okubaako ky’ekolawo.” Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Kino kiddiridde akulira minisitule y’Amerika ey’ensonga ez’ebweru, Antony John Blinken okutegeeza nga demokulaasi mu Uganda bw’asebengeredde olw’ebikolwa by’abanene abamu nga bwe kyalabikira mu kalulu ka 2021. Ku kino Kyagulanyi agamba natti zino zijjidde mu kaseera akatuufu.
Ono agamba nti basuubira nti n’amawanga amalala gajja kukola nga Amerika bwe yakoze babayambeko ku lutalo lw’okununula eggwanga n’okunyweza enfuga ya demokulaasi, bannansi bafune eddembe lyabwe.
Ku Lwokutaano, Minisita omubeezi ow’ensonga zeebweru, Henry Okello Oryem, yagambye nti gavumenti mwali terina ky’etidde ku natti zino.
“Kyannaku okulaba nti Amerika eriko abantu b’etandise okubonereza mu Uganda nga terina bujulizi, bye baali beebuuza twabyanukula era twabadde tusuubirwa Amerika n’abalala okussa ekitiibwa mu kye twabagamba.” Minisita Oryem bwe yategeezezza.
Minisita Okello alumiriza nti bano baasinzidde ku biwandiikibwa mu mpapula z’amawulire, ebisinde eby’enjawulo, abantu ssekinnoomu n’abeenoonyeza ebyabwe abaagala okuttattana ekifaananyi ky’eggwanga.
Ono yagumiza bannayuganda nti ebya natti tebijja kubaggya ku mulamwa gwa kukolera bannayuganda era n’asuubiza nti baakugenda mu maaso okutuukiriza Manifesito gye balina, bannayuganda bafune empeereza ennungi.