Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, anywezezza emitendera omuntu gyalina okuyitamu okuweebwa kkaadi y’ekibiina kiyambe okwewala empurunguse.
Okusinziira ku nsonda ku kitebe ky’ekibiina, Kyagulanyi ataddewo obukiiko obwenjawulo okuziyiza abaagala okukozesa ssente bafune kkaadi y’ekibiina obutafuna mukisa.
Ensonda zategeezezza nga Kyagulanyi bweyamyumyudde emitendera oluvanyuma lw’okukimanya nga bwewaliwo abantu abafunye ssente mu gavumenti nga bategeka okuzikozesa okuwangula kkaadi.
Bwebabadde batandika okusunsulamu abaagala okwesimbirawo ku kkaadi ya NUP eggulo Ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda mu NUP Jeremiah Mwanje yakakasizza nga bwewaliwo obukiiko obuwerako obutereddwawo okulaba nga wabaawo amazima.
Okusinziira ku Mwanje akakiiko akaali ku kitebe nga kagenda kukola ku babaka ba palamenti, bameeya neba ssentebe ba zi disitulikiti bwekamala okukusoya ebibuuzo n’okukebera obusobozi bwo ate oba oba olina okulinda akakiiko akasindikiddwa ku kifo ky’oyagala okuzuula oba kituufu olinayo obuwagizi.
Kitegeeza nti omuntu okuweebwa kkaadi alina okuba nga asembeddwa obukiiko obutereddwawo.
Akulira ekibiina kino Robert Kyagulanyi yavaayo nalabula obutattira muntu ku liiso singa anakwatirwa mu bikolwa eby’okulya enguzi era nategeeza nga ekibiina kino bwekirina okulaga enjawulo n’essuubi eri bannayuganda.
Kyagulanyi yategeeza nga bwebakkiriza nti abantu bonna benkana nga tebali kufa ku kitibwa, kusoma, ddiini oba ssente za muntu yenna nga bawa bannakibiina kkaadi.
Ensonda zitegeezezza nga bwewaliwo abantu abasindikiddwa okuva ku kitebe okugenda begatte ku bukiiko bwa NUP mu disitulikiti ez’enjawulo n’ebiragiro ebikambwe okulaba nga abantu abalondebwa beebo benyini abasaanidde era abalina omutima gw’ekibiina.
Leero luweze olunaku olwokubiri nga akakiikon kasunsulamu abaagala bbendera ya NUP era oluvanyuma lw’ebbanga lya Sabiiti bbiri kagenda kuvaayo n’olukalala ku bagenda okukwatira ekibiina bbendera ku mitendera egy’enjawulo okwetoloola eggwang.