Bya Ssemakula John
Kampala
Abeesimbyewo ku bwapulezidenti okuli; Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Patrick Oboi Amuriat ne Mugisha Muntu, basabye bannayuganda okulonda mu bungi era bakuume akalulu kaabwe oluvannyuma lw’okulonda ku Lwokuna.

Bano okusaba kuno bakukoledde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku Hotel Africana olwaleero ku Lwokubiri. Kyagulanyi ne banne basabye bannayuganda okukuuma akalulu k’omulundi guno nga tebafuddeyo ku kibiina kya byabufuzi oli mw’ali naye balwanirire obuwanguzi bwa bannayuganda.
Bino we bijjidde ng’ebbula ennaku bbiri zokka eggwanga ligenda mu kulonda era ng’abooludda oluvuganya baluubirira okuwangula Pulezidenti Yoweri Museveni, amaze emyaka 35 mu ntebe.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, alina kkaadi ya FDC, Patrick Oboi Amuriat, ategeezezza nti omulimu omunene gusigalidde kakiiko ka byakulonda okulaba ng’okulonda kubeera kw’amazima kuba bo beegasse okwanika ebirumira ebinaakubeeramu.
“Njagala okutegeeza akakiiko k’ebyokulonda nti bwe baba tebasobola kutegeka kalulu kalimu mazima n’obwenkanya, babeera tebalina mugaso ng’ekitongole.” Amuriat bw’agambye.
Ate ye alina bbendera ya Alliance for National Transformation (ANT), Mugisha Muntu, agambye nti bo ng’abavuganya omulimu gwabwe bagukoze nga kati kiri eri bannayuganda okumaliriza ekkatala lino.
Muntu agambye nti bannayuganda abawerako balaze nga bwe batagenda kulonda olw’emivuyo egibadde mu kunoonya akalulu. Wabula ono abasabye okuvaayo balonde, olutalo lusobole okuwangulwa.
Ye Kyagulanyi Ssentamu nga yeesimbyewo ku kkaadi ya NUP, yennyamidde olw’okutulugunyizibwa ab’ebyokwerinda era nga bano baamutandikirawo nga yaakamala okwewandiisa. Bobi Wine annyonnyodde nti mu Uganda gwafuuka musango okuvuganya Pulezidenti Museveni.
Kyagulanyi asabye bannayuganda okuvaayo okulonda mu bungi era bakuume akalulu kaabwe era baleme kugendera ku bigambo bya ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda,Simon Byabakama, eyabalagidde okudda eka.
“ Temugendera ku bigambo bya Byabakama kubanga bimenya amateeka, temulina tteeka lyonna lye mubeera mumenye okusigala ku bifo awalonderwa okukuuma akalulu kammwe.” Bobi Wine bw’agambye.
Ono asabye abantu okukozesa essimu zaabwe okukwata buvidiyo n’ebifaananyi singa balaba ebitagenda bulungi mu kalulu era beeyambise omutimbagano ku Uvote.
Mu nsisinkano eno, eyavuganyako ku bwapulezidenti, Dr. Kiiza Besigye, yeewuunyizza ku butabanguko obubadde mu kkampeyini z’omulundi guno nga wadde yavuganyako emirundi egisoba mu ena, naye tabulabangako.