Robert Kyagulanyi Ssentamu abangi gwebasinga okumanya nga Bobi Wine alangiridde ekibiina ekipya kyagenda okuyitiramu okuvuganya ku bwa pulezidenti omwaka ogujja.
Ekibiina kino ekibadde kiyitibwa National Unity, Reconciliation and Development Party kati kikyusiddwa erinnya nekiyitibwa National Unity Party [NUP] era nga kyakukozesa kabonero ka manvuuli.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’ekisinde kya People Power e Kamwokya, Kyagulanyi agambye nti babadde balina okufuna ekibiina okusobola okufuna akabonero akaawamu mwebanaayitira okuvuganya.
Yagambye nti baayagala okuwandiisa People Power naye nebalemesebwa gavumenti.
“Tukimanyi nti ebibiina by’ebyobufuzi tebyetaaya mu Uganda naye tulina okulwana okulaba nga tutaasa eggwanga lyaffe mu mwaka 2021,” Kyagulanyi bweyagambye.
Ate abadde akulira ekibiina kino Moses Kibalama Nkonge, yategeezezza nti bamaze akabanga nga beetegereza Kyagulanyi era ne bakizuula nti ebigendererwabye bifaanaganira ddala n’ebigendererwa byabwe ng’ekibiina.
“Kyagulanyi tayogerera bavubuka bokka wabula naffe abakadde,” Kibalama bweygaambye.
Kyagulanyi yalondebwa mu lukungaana lw’ekibiina olwatuula e Kakiri nga July 14 era nga Lewis Rubongoya ye Ssaabawandiisi w’ekibiina kino omujja.