Bya Ssemakula John
Kampala
Eyavuganyizza ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine atiisizatiisiza okuggyayo omusango mw’akanyiza obuwanguzi bwa Yoweri Museveni addukire mu kkooti y’abantu singa tafuna bwenkanya mu kkooti ensukkulumu.
Kyagulanyi ategeezezza nti kkooti ensukkulumu okugaana obujulizi bwabwe teyabadde ya bwenkanya ate nga n’abalamuzi basussizza okulaga kyekubiira kuba balina enkolagana ey’enjawulo ne Museveni.
Bobi Wine ategeezezza bannamawulire mu Kampala olwaleero nti, abasatu ku balamuzi 9 abali mu musango gwe, ayagala baguveemu kuba balina kyekubiira. Bano kuliko; Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Mike Chibita awamu ne Ezekiel Muhanguzi.
Kyagulanyi alumirizza Ssaabalamuzi aliko okubeera munnamateeka wa Museveni mu musango gw’ebyokulonda Dr. Kiiza Besigye mwe yali awakanyiza obuwanguzi bwe mu 2001 ate era n’abeerako ne Minisita mu gavumenti ye.
“Ssaabalamuzi ali mu musango gwaffe y’omu yalina okusaba okw’enjawulo kw’asaba Museveni nga Pulezidenti w’eggwanga, tulowooza nti tasobola kubeera mwenkanya gye tuli.” Kyagulanyi bw’agambye. Agattako nti Omulamuzi Chibita yaliko omuwandiisi mu woofiisi ya Pulezidenti Museveni ate ye Muhanguzi wa luganda ne Minisita Elly Tumwine. Kyagulanyi atabukidde kkooti olw’okumulemesa okukola ennongoosereza mu musango gwe wamu n’okugaana obujulizi bwe. Agamba nti byonna babikola olw’okubulwa obwetengerera kwa kkooti eno era byonna bikolwa kusanyusa Pulezidenti Museveni.
Bobi Wine agamba nti tebagenda mu kkooti eno nga basuubira okufuna obwenkanya naye baayagala ensi erabe kyekubiira ali mu kkooti eno n’alabula nti singa tafuna bwenkanya waakuddukira mu kkooti y’abantu basalewo.
Ono era avumiridde ekiwamba bantu ekigenda mu maaso wamu n’abantu ab’enjawulo abazze battibwa okuli munnamawulire Hadad Mubiru wamu n’akulira aba boodabooda e Ssemuto nga bano balangibwa kubeera na nkolagana naye. Aweze okwongera okulwanirira abakwate omuli ne banne abavunaanibwa mu kkooti y’amagye n’ategeeza nti bano n’emisango gye bavunaanibwa okusinziira ku mpaaba bagiddiza mu kaseera we baali abasibe mu kkomera e Masaka, ekintu ekitasoboka.