Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde abakaka abagendedde ku kkaadi ya NUP okwewala okugwa mubutego bwapulezidenti Museveni obwokuweebwa ebifo ne ssente nga abasaba okumwegattako.
Okulabula kuno Kyagulanyi akukoledde mu makaage e Magere bwabadde asisinkanye ababaka ba NUP abayiseemu mubitundu eby’enjawulo olwaleero ku Lwokubiri.
“Gavumenti egenda kubawa ssente era nkakasa mwawulidde Pulezidenti Museveni nga yewera okumalawo ekibiina kyaffe. Bagenda kubalonda ku bwaminisita era singa ogaana bajja kukutiisa okukusiba naye mbasaba tuleme kuyiwa bantu baffe,” Kyagulanyi bw’ agambye.
Kyagulanyi guno gwe mulundi ogusoose okwogerako ne bannamawulire okuva ku kulonda kwa January 14 lweyasibira ewaka gyabadde okumala ennaku 11 okutuusa eggulo kkooti lweyalagidde abakuumaddembe okumuviira.
Bobi Wine ababaka abakuutidde obuteerabira bizibu bya bantu ababalonze era nabategeeza nti balina okulaba nga eddoboozi ly’abantu liwulirwa era oyo yenna anaava ku bantu kyebamutumye yenenyanga yekka.
Ono agambye nti ababaka bano balina okukimanya nti balina omulimu nga abavubuka b’omugigi guno okukomya obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni baleme kwemalira ku bifo byebawangudde.
“Tulina omulimu nga abavubuka b’omugigi guno era mwebaduumizi, njagala buli omu ku mmwe afuuke Kyagulanyi buli wemuli,” Bobi Wine bw’ annyonnyodde.
Bano Kyagulanyi yabategeezezza nga bwalina bingi eby’okubagamba nga bannamawulire tebaliiwo.
Ku byalangirirwa omulamuzi Byabakama, Kyagulanyi yafuna ebitundu 34% nawangulwa Museveni nebitundu 58%. Ono agambye nti akalulu kano yakawangula era agenda kukozesa amakubo gonna agalagirwa mu mateeka okununula obuwanguzi bwa bannayuganda.