Bya Ssemakula John
Kyambogo
Akakiiko k’ebyokulonda kawandiisizza Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu ng’omu ku bagenda okuvuganya mu kalulu ka bonna aka 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/bobi.jpg)
“Nze Omulamuzi Byabakama Mugenyi Simon nga nze mpandiisa abantu abagenda okwesimbawo ku bwapulezidenti, nangirira Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ng’omu ku beesimbyewo ku bwapulezidenti oluvannyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo by’etteeka erirambika okulondebwa kwa Pulezidenti erya ‘Presidential Elections Act erya 2005,” Byabakama bw’agambye.
Ono ow’emyaka 38 tasobodde kukweka ssanyu lye oluvannyuma lwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Byabakama okumuyita okunona empapula ezikakasa nti ono awandiikiddwa.
Byabakama alabudde Bobi Wine obutagezaako kujeemera biragiro bya Ssennyiga Corona ebibaweereddwa akakiiko kano.
“Okukuba enkung’aana n’okuyisa ebivvulu n’oluseregende lw’emmotoka tebikkirizibwa,” Byabakama bw’alagidde Kyagulanyi, obwedda agambibwa okujja ng’ayogerako n’abawagizi be bw’abadde agenda okwewandiisa.
Byabakama amusabye okwewala okukung’aanya abantu abangi kubanga kino kiteeka obulamu bw’abantu be mu matigga.
Kino kiddiridde abawagizi okuli aba boodabooda n’abantu abalala bawerekedde Kyagulanyi okuva ewaka we e Magere okutuuka e Nakawa Era wano wabaddewo Vvaawo mpitewo ng’abeebyokwerinda bagezaako okuziyiza abawagizi okumugoberera.
Abamu ku bano balemeddeko era okukkakkana ng’abamu bakubiddwa omukka ogubalalagala ate abalala ne babayisaako ow’embuya okusobola okubagumbulula.