Bya Ssemakula John
Kamwokya – Kyaddondo
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, alangiridde kye bagenda okuzzaako ng’ekibiina oluvannyuma lw’okulaga obukakafu nti ye yawangula akalulu.
“Ndi wano okulangirira nti kati tuli ku lwaffe. Omusango nguleese mu kkooti y’abantu era bano bagenda kugulamula.” Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde leero e Kamwokya, Bobi Wine abalaze empapula ezimanyiddwa nga ‘DR Forms’ ezaaliko ebyava mu kulonda mu bitundu ebyenjawulo okukakasa obuwanguzi bwe.
Kyagulanyi agamba nti mu myaka gya 1980, Museveni ng’alemeddwa okufuna obwenkanya mu kkooti z’ekiseera ekyo oluvannyuma lw’akalulu okubbibwa, yasalawo n’ayingira ensiko okununula eggwanga naye bo nga NUP tebagenda kukozesa butabanguko.
“Ekyaffe kigenda kubeera kya mirembe naye nga tulemerako. Tukkiriza nti amaanyi g’abantu gasinga ag’abantu abali mu buyinza. Bannayuganda balina okusitukiramu okulemesa Gen. Museveni era kino tugenda kikola mu mirembe era mu mateeka.” Kyagulanyi bw’agambye.
Bobi Wine abadde ayogera bino ng’ennyonyi ya poliisi eri mu bwengula bwa kitebe kya NUP e Kamwokya ng’erawuna.
“Ssemateeka wa Uganda mu nnyingo ya 29 atuwa eddembe okwekalakaasa mu mirembe. Nkoowoola bannayuganda bonna okutambula nga mugenda ku woofiisi z’ebyokulonda mu bitundu byammwe okubanja obuwanguzi bwammwe.” Bobi Wine bw’agasseeko.
Kyagulanyi awadde ensonga 4 kwe bagenda okusinziira okwekalakaasa nga muno mulimu; Okubbibwa kw’akalulu ke baawangula n’ebitundu 54.19% okusinziira ku DR ffoomu ze balina.
Okusinziira ku byafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda byalaga nti Museveni akalulu akaakubwa yakawangula n’ebitundu 58.64 ku buli 100 ate nga ye Kyagulanyi yafuna ebitundu 34.83%.
Ensonga endala Kyagulanyi gy’awadde be bawagizi be abazze bawambibwa mu bitundu ebyenjawulo ab’ebitongole by’ebyokwerinda okuli amagye ne poliisi nga bano agamba balina okuzza abawagizi nga balamu oba nga bafu.
Kyagulanyi agamba ensonga y’okuggalira abantu mu makomera olw’ekyo kye bakkiririzaamu wamu n’obuwagizi bwe balina eri ekibiina kya NUP kye kimu ku bintu ebibasindise okwekalakaasa.
Ekirala Kyagulanyi ategeezezza nti kikyamu okuwozesa abawagizi be mu kkooti y’amagye ate nga si bajaasi ky’agamba nti kityoboola eddembe lyabwe n’okubalemesa okufunayo obwenkanya.
Bino we bijjidde nga poliisi yaakamala okulabula bannayuganda okwewala okwetaba mu by’okwekalakaasa okutegekebwa aba NUP nti tebagenda kubakkiriza.