• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine agamba akalulu yakawangulira ku 54.19%, alangiridde ekiddako

Gambuuze by Gambuuze
March 9, 2021
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine agamba akalulu yakawangulira ku 54.19%, alangiridde ekiddako
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kamwokya – Kyaddondo

Akulira ekibiina  kya  National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine,  alangiridde kye bagenda okuzzaako ng’ekibiina oluvannyuma lw’okulaga obukakafu nti ye yawangula akalulu.

Omubaka Robert Kyagulanyi gyebuvuddeko. Ekif: File

“Ndi wano okulangirira nti kati tuli ku lwaffe. Omusango nguleese mu kkooti y’abantu era bano bagenda kugulamula.” Kyagulanyi bw’ategeezezza.

Mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde leero e Kamwokya, Bobi Wine abalaze empapula ezimanyiddwa nga ‘DR Forms’ ezaaliko ebyava mu kulonda mu bitundu ebyenjawulo okukakasa obuwanguzi bwe.

Kyagulanyi agamba nti mu myaka gya 1980, Museveni ng’alemeddwa okufuna obwenkanya mu kkooti z’ekiseera ekyo oluvannyuma lw’akalulu okubbibwa, yasalawo n’ayingira ensiko okununula eggwanga naye bo nga NUP tebagenda kukozesa butabanguko.

“Ekyaffe kigenda kubeera kya mirembe naye nga tulemerako. Tukkiriza nti amaanyi g’abantu gasinga ag’abantu abali mu buyinza. Bannayuganda balina okusitukiramu okulemesa Gen. Museveni era kino tugenda kikola mu mirembe era mu mateeka.” Kyagulanyi bw’agambye.

Bobi Wine abadde ayogera bino ng’ennyonyi ya poliisi eri mu bwengula bwa kitebe kya NUP e Kamwokya ng’erawuna.

“Ssemateeka wa Uganda mu nnyingo ya 29 atuwa eddembe okwekalakaasa mu mirembe. Nkoowoola bannayuganda bonna okutambula nga mugenda ku woofiisi z’ebyokulonda mu bitundu byammwe okubanja obuwanguzi bwammwe.” Bobi Wine bw’agasseeko.

Kyagulanyi awadde ensonga 4 kwe bagenda okusinziira okwekalakaasa  nga muno mulimu; Okubbibwa kw’akalulu ke baawangula  n’ebitundu  54.19% okusinziira ku DR ffoomu ze balina.

Okusinziira ku byafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda byalaga nti Museveni akalulu akaakubwa yakawangula n’ebitundu 58.64 ku buli 100 ate nga ye Kyagulanyi yafuna ebitundu 34.83%.

Ensonga endala Kyagulanyi gy’awadde be bawagizi be abazze bawambibwa mu bitundu ebyenjawulo ab’ebitongole by’ebyokwerinda okuli amagye ne poliisi nga bano agamba balina okuzza abawagizi nga balamu oba nga bafu.

Kyagulanyi agamba ensonga y’okuggalira abantu mu makomera olw’ekyo kye bakkiririzaamu wamu n’obuwagizi bwe balina eri ekibiina kya NUP kye kimu ku bintu ebibasindise okwekalakaasa.

Ekirala Kyagulanyi ategeezezza nti kikyamu okuwozesa abawagizi be mu kkooti y’amagye ate nga si bajaasi ky’agamba nti kityoboola eddembe lyabwe n’okubalemesa okufunayo obwenkanya.

Bino we bijjidde nga poliisi yaakamala okulabula bannayuganda okwewala okwetaba mu by’okwekalakaasa okutegekebwa aba NUP nti tebagenda kubakkiriza.

Share this:

Tags: Bobi WineMuseveniNUPRobert Kyagulanyi
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.