Bya Ssemakula John
Kampala
Akwatidde ekibiina kya National Unity Platform bbendera, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), alangiridde nti waakuddayo mu bitundu by’e Kalangala ku Lwokutaano okunoonya akalulu.
“Baatulemesa okunoonya akalulu mu bitundu by’e Kalangala nga Decemba 30 naye njagala okukakasa abantu b’e Kalangala nti, tugenda kubeera nammwe ku Lwokutaano luno.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.
Kino kiddiridde Kyagulanyi okukwatibwa bwe yali e Kalangala n’ateekebwa ku nnyonyi ppaka mu makaage ate ttiimu ye emunoonyeza akalulu n’eggalirwa e Masaka.
Bobi Wine addamu okunoonya akalulu olunaku lw’enkya ng’atandikira Namisindwa oluvannyuma agende e Namayingo ku Lwokuna.
Kyagulanyi era asinzidde n’awera okwongera okwanika ebikolwa bya Pulezidenti Museveni ne Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi, Simon Byabakama.
Kyagulanyi yennyamidde ku bikolwa by’okumutulugunya ne ttiimu ye ebibakolebwako ab’ebyokwerinda abalina okubakuuma mu mateeka.
“Akakiiko k’ebyokulonda kalabikira ddala nti tekali mu mitambo gya byakulonda kuno era twongedde okukakasa nti kalina kyekubiira. Akakiiko tekalina kye kaavaayo kwogera nga ttiimu yange yonna ekwatiddwa, era tewali kye kaakola nga mpambiddwa okuva e Kalangala.” Kyagulanyi bw’agambye.
Kyagulanyi annyonnyodde nti akakiiko k’ebyokulonda kelemeddwa okulaga obusobozi bw’okutegeka akalulu ak’amazima n’obwenkanya kuba emirundi gyonna poliisi gy’etyobodde amateeka ng’ebakuba n’okubalemesa okukuba enkung’aana, akakiiko kasigadde kasirise.
Ono agamba nti mu ngeri y’okubakugira ng’oludda oluvuganya, akakiiko kaawera kkampeyini mu disitulikiti 13 kyokka eno, Pulezidenti Museveni yasigalayo nga yeegazaanya.