Bya Ssemakula John
Koboko
Alina bbendera y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asabye abalonzi mu kibuga ky’e Koboko okulonda munna NRM, Dr. Charles Ayume era n’asuubizza okuwa abavubuka abalinga ye ebifo mu gavumenti ye bwanaawangula akalulu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/12/gagaga.png)
Bino Kyagulanyi abyogeredde Koboko ku kisaawe kya Boma Grounds enkya ya leero n’ategeeza nti wadde Ayume wa kibiina kya NRM naye balina bingi bye bafaanaganya ng’abavubuka.
“Mbasaba abantu b’e Koboko mulonde omuvubuka oyo Charles Ayume, nkimanyi nti tasobola kuvaayo kunjogerako kalungi konna kuba atya Pulezidenti Museveni naye olw’okuba nze mwatuumye Lupiny, sirina kutya kwonna.” Kyagulanyi bw’abasabye.
Kyagulanyi ategeezezza ab’e Koboko nti tazze kulwanyisa bavubuka banne mu kitundu kino naye okufuba okulaba ng’abavubuka bafuna eddembe lyabwe wamu n’obwenkanya.
Ono asuubizza nti agenda kukolera awamu n’abavubuka nga Ayume mu gavumenti, basobole okulwanyisa ebizibu ng’obwavu obunyize ennyo abavubuka.
Kinajjukirwa nti Charles Ayume mutabani we yali Sipiika wa Palamenti Francis Ayume, eyafiira mu kabenje e Nakasongola bwe yali ava okuzannya Golf mu mwaka gwa 2004.
Abawagizi ba NUP mu kitundu kino baaniriza eky’okuwagira Ayume ne bategeeza nti ono amaze akaseera ng’akolerera ekitundu kyabwe era nga balina essuubi nti bw’anaawangula akalulu ajja kusobola okubakolera.
Obutafaananako na nkung’aana za Kyagulanyi eziyise, ku mulundi guno Kyagulanyi takugiddwa nga bwe kitera okubeera era ng’ono alabiddwako ng’ayisa ebivvulu mu kitundu kino awatali kukubwa ku mukono.