Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku ttaka ekya Buganda Land Board (BLB) kyakwongera amaanyi mu kaweefube w’okusomesa abantu ku bukulu bw’okutereeza obusenze bwabwe ku ttaka lya Buganda era bamanye n’obuvunaanyizibwa bwabwe, kiyambe emirimu okutambula.
Enteekateeka eno eyanjuddwa ng’ekitongole kino kitongoza Nnamutayiika waakyo ow’emyaka esatu ng’ono atandika 2022 okutuuka 2024 era mu nsisinkano eno mwetabyemu n’abakulira ekitongole kino ng’eyindidde ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Buganda Land Board, Owek. Eng. Martin Sseremba Kasekende, ategeezezza nti wadde mu kiseera kino waliwo okusoomooza ku nsonga ezeekuusa ku ttaka olw’abantu abatandise okuzitabikamu eby’obufuzi wabula alina essuubi nti okusoomoozebwa kuno kugenda kukolwako okuziba emiwaatwa gyonna bannakigwanyizi mweberimbika.
“Nga bwemumanyi ettaka liyingiddemu eby’obufuzi, bannakigwanyizi kyokka waliwo nabaagala okuddukanya ettaka lya Ssaabasajja mu ngeri bo gyebaagala so ngate ettaka lyaddizibwa Obwakabaka. Guno omulundi tugezaako okumyumyula okulaba nti ensonga ezo tuzitunuulira n’eriiso egyogi,” Eng. Kasekende bw’ annyonnyodde.
Ate ye Ssenkulu w’ekitongole kino, omukungu Simon Kabogozza, agambye nti mu nnamutaayiika ono balowoozezza ne ku mbeera eriwo mu Uganda era bakukolagana n’ebitongole ebirina akakwate ku nzirukanya y’ettaka mu Uganda, okulaba nga nnamutaayiika ono atuukirizibwa.
“Twagala okutuusa wansi empeereza awamu n’okulongoosa mu mpereza yaffe nti omuntu bwajja nga alina kyeyetaaga akifuna mu bwangu ate mu ngeri ey’ekikugu,” Omuk. Kabogozza bw’agambye
Kabogozza ategeezezza nga bwe bagenda okwongera amaanyi mu kusomesa abantu b’Omutanda ku nsonga zonna ezeekuusa ku by’ettaka, kyanguye emirimu kuba abantu bajja kuba bategedde obuvunaanyizibwa bwabwe era kyakuyamba n’okukuuma ettaka lya Buganda.
Ono asabye abantu naddala abo abali ku ttaka lya Kabaka okutereeza obusenze bwabwe nga bakolagana butereevu n’ekitongole ekya BLB era beewale ebibungeesebwa abantu abeenoonyeza ebyabwe.