• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

BLB yaakwongera okusomesa abantu ku bukulu bw’okutereeza obusenze ku ttaka ly’Obwakabaka

Gambuuze by Gambuuze
November 9, 2021
in Amawulire
0 0
0
BLB yaakwongera okusomesa abantu ku bukulu bw’okutereeza obusenze ku ttaka ly’Obwakabaka
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku ttaka  ekya Buganda Land Board (BLB) kyakwongera amaanyi mu kaweefube w’okusomesa abantu ku bukulu bw’okutereeza obusenze bwabwe ku ttaka lya Buganda era bamanye n’obuvunaanyizibwa bwabwe, kiyambe emirimu okutambula.

Enteekateeka eno eyanjuddwa ng’ekitongole kino kitongoza Nnamutayiika waakyo ow’emyaka esatu ng’ono atandika 2022 okutuuka 2024 era mu nsisinkano eno mwetabyemu n’abakulira ekitongole kino ng’eyindidde ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba.

Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Buganda Land Board, Owek. Eng. Martin Sseremba Kasekende, ategeezezza nti wadde mu kiseera kino waliwo okusoomooza ku nsonga ezeekuusa ku ttaka olw’abantu abatandise okuzitabikamu eby’obufuzi wabula alina essuubi nti okusoomoozebwa kuno kugenda kukolwako okuziba emiwaatwa gyonna bannakigwanyizi mweberimbika.

“Nga bwemumanyi ettaka liyingiddemu eby’obufuzi, bannakigwanyizi kyokka waliwo nabaagala okuddukanya ettaka lya Ssaabasajja mu ngeri bo gyebaagala so ngate ettaka lyaddizibwa Obwakabaka. Guno omulundi tugezaako okumyumyula okulaba nti ensonga ezo tuzitunuulira n’eriiso egyogi,” Eng. Kasekende bw’ annyonnyodde.

Ate ye Ssenkulu w’ekitongole kino, omukungu Simon Kabogozza, agambye nti mu nnamutaayiika ono balowoozezza ne ku mbeera eriwo mu Uganda era bakukolagana n’ebitongole ebirina akakwate ku nzirukanya y’ettaka mu Uganda, okulaba nga nnamutaayiika ono atuukirizibwa.

“Twagala okutuusa wansi empeereza awamu n’okulongoosa mu mpereza yaffe nti omuntu bwajja  nga alina kyeyetaaga akifuna mu bwangu ate mu ngeri ey’ekikugu,”  Omuk. Kabogozza bw’agambye

Kabogozza ategeezezza nga bwe bagenda okwongera amaanyi mu kusomesa abantu b’Omutanda ku nsonga zonna ezeekuusa ku by’ettaka, kyanguye emirimu kuba abantu bajja kuba bategedde obuvunaanyizibwa bwabwe era kyakuyamba n’okukuuma ettaka lya Buganda.

Ono asabye  abantu naddala abo abali ku ttaka lya Kabaka okutereeza obusenze bwabwe nga  bakolagana butereevu  n’ekitongole ekya BLB  era beewale ebibungeesebwa abantu abeenoonyeza ebyabwe.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: BLBBuganda Land BoardEng. Martin Sseremba Kasekendeomukungu Simon Kabogozza
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist