Bya Ssemakula John
Kampala
Omutandisi w’ekibiina kya National Unity, Reconcilliation and Development Party (NURP) ekyafuuka National Unity Platform (NUP), azzeemu okutabukira obukulembeze bwa NUP obukulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine n’amusaba amuddize ekibiina kye.
Kibalama ne banne okuli; Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Ssimbwa Paul Kagombe, Kigozi Winston ne William Odinga Balikuddembe nga bayita mu bannamateeka baabwe aba MS Mugabi Shyaka & CO. Advocates, baawandiikidde Ssaabawandiisi wa NUP aliko David Lewis Rubongoya nga basaba okuddamu okwekenneenya endagaano gye baakola omwaka oguweddde n’akulira ekisinde kya People Power Movement, Robert Kyagulanyi.
“Otegeezebwa nti akatundu nnamba 5 ak’endagaano gye twakola kalina okuddamu okwetegerezebwa era omuntu waffe yatutegeezezza nti okuva lwe mwassa emikono ku ndagaano eno byonna ebyakkaanyizibwako byasuulibwa mu kasero era n’ebifo ebyalina okuteekebwawo tebyateekebwawo.” Ebbaluwa gye baasindikidde Rubongoya bw’esoma.
Kibalama agamba nti Kyagulanyi ne banne baabalimba era kati baagala endagaano gye baakola eddemu yeetegerezebwe.
Okusinziira ku Kibalama era yakizudde nti ekisinde kya People Power Movement kye baakola nakyo endagaano tekyali kiwandiise mu mateeka nga noolwekyo kyali tekikkirizibwa mu mateeka kukola ndagaano yonna kuba si kiwandiise.
Kati ono annyonnyola nti mwetegefu okweddiza ekibiina kya National Unity Platform singa obukulembeze obuliwo bugaana okumusisinkana.
“Singa mulemwa okutuuza olukiiko luno nga bwemusabiddwa, mu kitwale nti endagaano gye twakola nga July 11, 2020 ejja kuba esaziddwamu era mujja kuba mulina okuwaayo byonna ebikwata ku kibiina eri omuntu waffe.” Ebbaluwa ya bannamateeka bw’esoma.
Kibalama yategeeza bannamawulire gye buvuddeko nti si musanyufu n’engeri abakulira NUP mu kiseera kino gye babasudde ebbali nga buli kimu bakikola awatali ku beebuuzaako.
NUP emwanukudde
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yakakasizza okufuna ebbaluwa eno naye n’ategeeza nti ng’ekibiina kya NUP, kijja kufulumyawo ekiwandiiko ekitongole ku nsonga eno.
Ate ye Omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi agamba nti tewali ngeri yonna gye bandikoze ndagaano ya kika kino ne Kibalama ng’eraga nti mu bbanga lya mwaka erina okwekenneenyezebwa.
Ssenyonyi yagasseeko nti bo nga NUP bajja kusigala nga bagoberera Ssemateeka w’ekibiina ky’agamba era n’awakanya ebyogerwa nti tewali kukwatagana ne Kibalama.