Bya Ssemakula John
Kampala
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, alabudde abeesimbyewo ku kukuba enkung’aano n’okuyisa ebivvulu nga banoonya akalulu nti, bino tebikkirizibwa.
Okusinziira ku Byabakama, enkug’aana zino ziteeka abawagizi mu kabi k’okukwatibwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
“Akakiiko kalabula abeesimbyewo ku bifo eby’enjawulo n’abantu bonna abakwatibwako, okweyisa mu ngeri egoberera ebiragiro n’amateeka agatangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona ebyabaweebwa akakiiko k’ebyokulonda. Singa omuntu anaagaana okugondera ebiragiro bino, ebitongole ebikuumaddembe bijja kuyingirawo,” Obumu ku bubaka obubadde mu kiwandiiko kya Byabakama bwe busomye.
Okusinziira ku Byabakama abeesimbyewo okuli n’abaagala obwapulezidenti balemeddwa okugoberera ebiragiro bye baaweebwa, ekintu ekiyinza okuzaala obuzibu.
Byabakama agasseeko nti abamu ku beesimbyewo bakunze abawagizi baabwe okukung’aanira mu bifo we balina okukuba enkung’aana, wadde nga bakimanyi bulungi nti enkung’aana ze balina okukuba tezirina kusukka bantu 200.
Ono agambye nti abamu ku beesimbyewo bakubye enkung’aana mu bifo ebitaabaweebwa nga kuno bagasseeko n’okuyisa ebivvulu mu ttawuni n’obubuga obwenjawulo gye banoonyeza obululu, wadde nga bakimanyi nti balina okuteekawo amabanga, okunaaba mu ngalo n’okwambala obukookolo.
Omulamuzi Byabakama alabudde abeesimbyewo abayimirira mu butawuni ekintu ekikung’aanya abantu okukikomya n’ategeeza nti tebagenda kukkiriza muntu kuyimirira wantu w’atalina kukuba lukung’aana.
ku ky’okwambala obukookolo Byabakama asabye abawagizi n’abeesimbyewo okwambala Masiki kubanga tebamanyi ani ayinza kuba na kirwadde kino.
Olunaku lw’eggulo Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stephen Kazimba Mugalu, naye yagikoonyeeko n’alabula abeesimbyewo obutateeka bulamu bwa bawagizi bwabwe mu matigga.
Ate ye eyeesimbyewo ku bwapulezidenti, Mugisha Muntu, bwe yabadde mu Zooni ya Ssebina mu Makerere ku Lwokubiri yasabye abantu okwambala obukookolo era bakimanye nti ekirwadde gyekiri kibayambe obutakwatibwa.