Bya Kato Paul
Omulabirizi wa West Buganda, Rev. Henry Katumba-Tamale, yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okusiima emikolo gy’okujjukira Amatikkira ag’omulundi ogwa 28, okukwatibwa e Nkoni mu Buddu.
Okusiima kuno Omusumba Tamale akukoze asisinkanye omumyuka wa Ppookino owookubiri,Yiga Payineto, okulaba enteekateeka y’okwetegekera Amatikkira gano we zituuse e Mitemula mu disitulikiti y’e Masaka.
Omusumba Katumba Tamale agamba nti Omutanda okusiima okuleeta Amatikkira g’e Buddu, kya ssanyu jjereere kuba Bannabuddu buli kiseera bamulinda n’essanyu olwensonga, Beene ye yasiima n’akkiriza ekibuga ky’e Masaka kifuuke City. Era yasiima n’omulembe gwe n’aguwa Abavubuka ate ng’abavubuka basinga mu ssaza Buddu.
Tamale agamba nti Omutanda yasukkulumya nnyo essaza nga yabatandikirawo n’enkola y’Emmwanyi Terimba ng’eno esukkulumizza nnyo Bannabuddu mu byenfuna. Ssaako okubayamba ng’aboobulabirizi bwa West Buganda Diocese, okutaasa ettaka lyabwe eryali litwalibwa abatamanyang’amba nga kati balisimbyeko emmwanyi.
Omumyuka wa Ppookino, Yiga Payinento, agamba nti Obulabirizi bwa West Buganda bwe bwakwatizaako Obwakabaka okutumbula embeera z’abantu mu Buddu, nga kati kizibu okusanga omuvubuka alera engalo.
Ono era asiimye Beene olw’okukuuma enkolagana wakati wa bannaddiini ne Buganda.