• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Biibino ebiragiro ebikambwe Museveni bye yayisizza ku Corona

Gambuuze by Gambuuze
June 7, 2021
in Amawulire
0 0
0
Biibino ebiragiro ebikambwe Museveni bye yayisizza ku Corona
0
SHARES
585
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayisizza ebiragiro ebikambwe era n’abaako ebintu ebyenjawulo by’aggadde okusobola okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Bino we bijjidde ng’omuwendo gy’abafudde Ssennyiga Corona gulinnya buli lunaku. Eggulo ku Ssande abakwatiddwa ekirwadde kino batuuse ku bantu 1,200 be bafunise ng’abasinga ku bano bavubuka.

Kino kyawalirizza Pulezidenti Museveni okunyweza mu biragiro ng’agamba nti bannayuganda basusse obutafaayo n’okulagajjalira ekirwadde kino ekikambwe. Mu kwogerako eri eggwanga olunaku lw’eggulo, Pulezidenti Tibuhaburwa Museveni yalagidde amasomero gonna gaggalewo ku mitendera gyonna okutuuka ku yunivaasite.

Amasomero n’amatendekero aga waggulu gagenda kuggalwa okumala ennaku 42, era bwe ganaaba gakuddamu abasomesa bonna baakusooka kugemebwa. Museveni alabudde abo bonna abaneesisigiriza ne bagaana okugemebwa nti tebajja kukkirizibwa kulinnya mu kibiina.

Bino we bijjidde ng’abayizi abamu babadde bagenda kuddayo buzzi okuli abali mu bibiina ebya wansi okuli aba P1 okutuuka mu P3.

Ono era alagidde abayizi batandike okuggyibwa ku masomero nga bano era okusobozesa kino takisi zikkirizibwa okubatambuza okutuuka nga June 10. Oluvannyuma zijja kukolera munda mu disitulikiti zino awatali kusala kugenda mu ndala.

Kino nakyo kigenda kukola okumala ennaku 42, ate nga mu mbeera yeemu n’amasinzizo gaggadde. Emmotoka ezisaabaza ebyamaguzi zigenda kusigala nga zikola, wabula ziteekeddwa okubeeramu abantu 2 bokka era zo zaakukkirizibwa okutambula okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala.
Omukulembeze era ayongedde okukakasa nti bagenda kulwanyisa obumenyi bw’amateeka bwonna.

Museveni okunyweza kino agamba nti abapoliisi ba tulafiki balina okuweebwa emmundu okusobola okukwata obulungi abanaamenya ebiragiro.
Kino wabula tayogedde kigenda kutandika ddi okukola.
Kati mu ngeri yeemu, alagidde akulira ekitongole kya bambega, Grace Akullo, okunnyonnyola eggwanga okunoonyereza kwabwe we kutuuse ku butemu obwenjawulo obuzze bukolebwa ku bantu abagundiivu mu ggwanga.

Mu birala, enkung’aana zonna okuli emikolo, embaga n’ebirala byakugenda mu maaso wabula nga kuliko abantu 20 bokka era nakino kyakumala ennaku 42.
Ate amasiga ga gavumenti, gaakusigala nga gakola nga muno mulimu; olukiiko lwa baminisita, Palamenti n’essiga eddamuzi.

Bwo obudde bwa kafyu busigadde ku ssaawa 3 ez’ekiro okutuukira ddala ku 11 n’ekitundu ng’obudde bukya ate nga boodabooda ziteekeddwa okukoma okukola ku ssaawa 12, ez’akawungeezi.
Okusinziira ku biragiro, obutale bw’omubuulo buyimiriziddwa wabula bwo obw’emmere bwakusigala nga bukola, alabudde nti abanaamenya ebiragiro baakuwa engassi.

Ebiragiro ebiyisiddwa;
1.Amasomero gaggaddwa ennaku 42
2. Amasinzizo gaggaddwa ennaku 42
3. Embaga zikkiriziddwako abantu 20 bokka.
4. Okuziika kukkiriziddwako abantu 20
5. Obutale bw’omubuulo buggaddwa
6. Entambula z’olukale zigaaniddwa okusala mu disitulikiti.
7. Entambula ezikkiriziddwa za munda mu disitulikiti mwokka.
8. Emmotoka ez’obuyonjo zikkiriziddwamu abantu 3.
9. Entambula ezisala mu disitulikiti ziwereddwa.
10. Ebizimbe by’obusuubuzi birabuddwa.
11. Ebbaala zisigadde ku muggalo.
12. Amakolero gakkiriziddwa okusigala nga gakola.
13. Abazimbi bakkiriziddwa okusigala nga bakola.
14. Aba boodabooda bakkiriziddwa okusaabaza omuntu omu
15. Abamenya ebiragiro bagenda kutaanzibwa ssente.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.