Bya Ssemakula John
Eggwanga lya DR.Congo lyategeezezza kkooti y’ensi yonna eya ‘International Court of Justice’ eggulo ku Lwokubiri nti lyagala Uganda erisasula obuse 15 (15 Trillion) olw’ebyo ebyaliwo Uganda bwe yalirumba n’enyaga eby’obugagga byalyo mu kitundu kya Ituri. Kkooti eno ey’ekibiina ky’amawanga amagatte wiiki eno yazzeemu okuwulira ensonga Congo mw’eyagalira okugiriyirira olwa Uganda okuginyaga wakati wa 1998 – 2003.
Munnamateeka wa Congo, Paul-Crispin Kakhozi Bin- Bulongo, yategeezezza abalamuzi ba kkooti eno nti ebikolwa bya Uganda byabafiiriza kinene mu myaka ettaano gye bwamala n’agattako nti mu nteeseganya ze baalimu Uganda yateesanga ebalaata.
Kati Congo eyagala obuse 15 wadde mu kusooka yali esabye obuwumbi 10 bwokka. Omusango guno gwasooka okuwulira mu kkooti y’ensi yonna mu 1999 ne 2005 era kkooti y’ensi yonna n’ekakasa nti Uganda yamenya amateeka okulumbagana Congo.
Kkooti yalamula nti ekikolwa kya Uganda okusindika abajaasi baayo mu Ituri ne bawamba ekitundu kino nga bakolagana n’ebiwayi bya bamukwatammundu abaakirimu, kyali kikyamu.
Era Kkooti y’emu n’egamba nti ekikolwa kya Congo okulumba ekitebe kya Uganda ekyali e Kinshasha nakyo kyali kikyamu. Kkooti yalagira amawanga g’omuliraano okukubaganya enteeseganya buli ludda luliyirire lunnaalwo, naye mu 2005 Congo yaddayo mu kkooti eno ng’egamba nti enteeseganya zaali tezitambula.
Kino kyawaliriza aba UN okuyungula abakugu okwetegereza ensonga eno okulaba engeri gye baliyirirwamu n’ensimbi ezeetaagisa. Kati kkooti eno ezzeemu okuwulira ensonga zino.
Uganda nayo esuubirwa okuwaayo okwewozaako kwayo n’ensimbi z’eyagala okuliyirirwa mu wiiki ejja.