Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze abadde Minisita w’ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya okubeera Kaliisoliiso wa gavumenti omuggya.
Kino kyalangiriddwa ku Lwokuna akawungeezi nga ezimu ku nkyukakyuka ezaakoleddwa mu bifo by’obukulembeze obwenjawulo era Anne Muhairwe nalondebwa okubeera omumyuka we .
Beti Kamya yazze mu bigere bya Irene Mulyagonja eyawummula obukulu buno oluvannyuma lw’ekisanja kye okuggwako mu July wa 2020. Era Pulezidenti Museveni mu kifo kino abadde talonderangamu muntu era abamu ku balafubanira obwerufu babadde bamuteeka ku nninga buli kadde nga bamusaba okujjuza ekifo kino.
Wabula omu ku batunuulizi b’ebyobufuzi, Charles Rwomushana akubye ebituli mu kulondebwa kwa Kamya nategeeza nti ono talina kyamanyi kyagenda kutuukako mukulwanyisa obulyake n’obukenuzi nti kuba ensonga emuleesezza byabufuzi n’okumufunira omulimu so si bukugu.
Kinajjukirwa nti ono abadde yakamala okuvuganya mu kalulu k’omubaka wa Lubaga North mu Palamenti wabula gyebyagweredde nga munnakibiina kya National Unity Platform, Abubaker Kawalya amuwangudde.
Kalisoliiso wa gavumenti yavunaanyizibwa ku kulwanyisa enguzi n’obukenuzi wamu n’okulinnya ku nfeete abakozi ba gavumenti abakozesa obubi ebifo ne woofiisi zabwe.