Bya Musasi Waffe
Najjanankumbi
Eyali pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) Col Dr. Kizza Besigye, agamba nti tagenda kwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021.
Kino kimazeewo okubuusabuusa abantu abamu kwebabadde nakwo nga balowooza nti Besigye akomawo.
“Nkiriziganyizza ne bannange tufune omuntu omulala akulembera pulaani A ey’ akalulu, nze ngenda kulembera ku pulaani B. Tebabalimba nti nsobola kuva mu lutalo lw’ okunnunula ggwanga, ” Besigye bwetegeezezza
Bino abyogeredde Najjanankumbi ku Lwokusatu bwabadde ayogerako ne bannakibiina.
Embeera okusooka yabadde ya bunkenke nga Besigye atuuka e ku kitebe era buli omu obwedda alinze okuwulira ekirangiriro Besigye kyabadde agenda okukola. Abamu ku bavubuka bagezezzaako okukakka Dr. Besigye ajjeyo empapula ekintu kyagaanye.
Abavubuka bakakkanye Besigye bwalaze nti wakuwagira omuntu yenna ekibiina gwekinaleeta okuvuganya ku bwapulezidenti.
Bino webigidde nga ssentebe wa FDC mu ggwanga Wasswa Birigwa ne pulezidenti aliko Patrick Amuriat bamaze dda okujjayo empapula bavuganye ku bwapulezidnti mu kalulu ka 2021.
Besigye agamba nti yalina okubeera pulezidenti omutuufu kubanga ye yawangula akalulu ka 2016 sso si Museveni.
Besigye nga emirundi giweze nga ajja yeesimba ku Museveni mukulonda okwasembayo yafuna ebitundu 35 n’obutundutundu 4 ku 100 ate nga Museveni yawangulira ku bitundu 60. n’obutundutundu 8 mu kalulu ka 2016.