Bya Ssemakula John
Kampala
Eyavuganyaako ku ntebe y’obwapulezidenti, Dr. Kiiza Besigye, avumiridde ekiwamba bantu ekiri mu ggwanga era n’akunga bannayuganda okusitukiramu beerwaneko ku bukulembeze bwa Pulezidenti Yoweri Museveni.
“Okuva mu kalulu kano bakutte abaana baffe bayitirivu nnyo, bali mu makomera, batugulunyizibwa e Mbuya, Kireka ne Nalufenya. Batulugunyizibwa era abafa ne babasuula mu ggwanika mu malwaliro.” Besigye bwe yennyamidde.

Bino Besigye abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku woofiisi za People’s Government mu Kampala, leero ku Lwokuna nga ayanjula ekiri mu ‘Plan B’.
Ono annyonnyodde nti tebasobola kuleka mbeera eno ng’abakulembeze ne basirika obusirisi olw’okuba nti abali mu buyinza balowooza nti bannayuganda batidde nnyo naye bagenda kukunga bannayuganda era basalewo kino kibeeko we kikoma.
Besigye agambye nti ayagala okulaba nga bannayuganda bavaayo okubaako kye bakola ku mbeera eriwo mu ggwanga era asuubira nti singa Museveni anaaba tannakola ku kyakuddiza bannayuganda buyinza bwabwe tebagenda kulonza okumunaabira mu maaso.
“Ebyokulonda byayise era kati ke kaseera ffenna twegatte tusobola okufuna eddembe lyaffe.” Dr. Besigye bw’agambye.
Ono agambye nti akalulu kongedde okulaga obwannakyemalira bwapulezidenti Museveni era n’okulaga nti Uganda etambulira ku mmundu era nga akalulu Pulezidenti Museveni yakategeka n’akalabirira ate era n’akalangirira.
Dr. Besigye ategeezezza nti abantu beeyongedde okukyawa Pulezidenti Museveni nga ku luno yayiseewo na mmundu ne ssente zonna ng’ezisinga ku zino yazeewola mu mawanga g’ebweru.
“Olutalo lwe tulwana lwakununula obuyinza bwaffe nga bannansi ba Yuganda, twagala obuyinza obusalawo ku bugagga bwaffe, obuyinza ku ani mutuufu ne ani mukyamu ne ani atufuga.” Dr. Besigye bw’annyonnyodde.
Besigye agamba nti embeera bannayuganda gye beesanzeemu oluvannyuma lw’akalulu kwe kuba nti tebalina ssuubi era nga tebalina kintu kyonna kye basigazza mu nsi yaabwe.
Ono ajuliza omukago ogwateekebwawo Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere era nga muno mwe bagenda okusinziira okutambulira awamu basobole okununula eggwanga lyabwe.
Kiiza Besigye alabudde Pulezidenti Museveni obuteeyibaala kuba n’abafuzi b’amatwale baali b’amaanyi naye bannayuganda bwe beegatta mu kiseera ekyo, baasobola okuwangula Abangereza.
Besigye akunze bannayuganda okukola okusalawo bennyigire mu kulwanirira eggwanga lyabwe basobole okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.








