Bya URN
Kampala
Ssenkaggale wa Democratic Party (DP) agambye nti okusalawo kwa Dr. Kizza Besigye obuteesimbawo mu kalulu ka 2021 kwekugezesebwa okukyasinze eri ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC).
Besigye abadde yakeesimbawo enfunda nnya (4) ekiragiriro kino yakikoledde ku kitebe kya FDC ku Lwokusatu.
Okugumizza kyeyasazzeewo Besigye yagambye nti, bakkiriziganyiza n’ekibiina kye baleete omuntu omulala okwesimbawo kyeyayise pulaani A nategeeza nti ye wakusigala ku pulaani B.
Mao agamba nti Besigye abadde mmundu mmenye mukuvuganya pulezidenti Museveni n’obukulembeze bwe nga akalulu ka 2021 kigenda kubeera kigezo kinene eri FDC.
Ono yanyonyodde nga Besigye bwalese ekituli ekinene mu FDC ekitasobola kuzibibwa.
Wabula akulira ekibiina ki Social Democratic Party Michael Mabikke, nga ono yakasala eddiiro neyegatta ku National Unity Platform (NUP) agamba akadde kabadde katuuse Dr. Kizza Besigye okulekera omuntu omulala alina ebirowoozo ebito avuganye.
Mabikke yagasseeko nti wadde Besigye ye munnabyabufuzi yekka ku ludda oluvuganya asobodde okuweza ebitundu 30 ku 100 kwabo ababadde bavuganya Museveni naye tekitegeeza nti lye ssuubi lya Opozisoni lyokka.
Ono yajjuliza Dr. Paul Kawanga Semwogerere eyafuna ebitundu 27 ku 100 mu kalulu ka 1996 okulaga nti Besigye ssi wanjawulo.
Bweyabadde ayogerako eri abawagizi b’ekibiina Besigye yagambye nti pulezidenti Museveni tasobola kuwaayo buyinza nga ayita mu kalulu.
Ku nsonga eno Mao, agamba nti wadde kizibu okuwangulira Museveni mu kalulu naye kisoboka singa abantu bakolera wamu era nga beteeseteese bulungi.
Wano Mabikke yalaze nti kisobokera ddala Opozisoni okuwangula akalulu naawa ebyokulabirako mu Africa obuyinza gyebukyuse nga e Gambia.
Ate ye omutunuulizi w’ebyobufuzi Yusuf Serunkuma, yategeezezza nti embeera eri mu nsi obuyinza gyebukyuse ya njawulo.
Serunkuma agattako nti pulezidenti mu Uganda asobola okukyanga akalulu nekatuuka nga akakiiko k’ebyokulonda tekakyagasa.
Yalambuludde nti oba Besigye waali oba Robert Kyagulanyi, Museveni asobola okukyanga akalulu nafunamu kyayagala.