Bya Ssemakula John
Kampala
Eyali pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Dr. Kiiza Besigye, alabudde bannayuganda ku bwavu obuyitiridde mu byalo n’ategeeza nti ebikolwa bino bigenderere.
Besigye yagambye nti ebikolwa bya gavumenti okusaanyaawo ebibiina by’obwegassi ebyali biwaniridde obulimi n’ebyenfuna nga biyamba abantu b’omu kyalo okwetuusaako bye beetaaga, byali bitegeke okusobola okubakuumira mu bwavu.
“Buli muntu mu byalo alina ebbanja okuva mu SACCO, abakyala badduse mu maka gaabwe olw’amabanja n’amaka agawerako gasaanyeewo lwa mabanja.” Besigye bwe yagambye.
Bino Besigye yabibuulidde bannamawulire ku Lwokuna bwe yabadde ku woofiisi ze e Katonga wano mu Kampala.
Besigye yagambye nti tewali kirungi bannayuganda mu byalo kye bagenda kufuna mu bibiina bya SACCO okuggyako okwongera okubavuwaza kubanga ababitandika baba batunuulidde kimu kya kukola magoba.
Ono yasabye gavumenti eyambeko okuyingira mu nsonga y’obwavu obuyitiridde mu bantu ng’ekiwundu tekinnasamba ddagala kubanga embeera ate yeeyongedde okubeera embi olw’ekirwadde kya COVID-19.
Besigye era yasinzidde wano n’ayambalira gavumenti naddala minisitule y’ebyenjigiriza olw’okuvaayo n’esaba abantu okugira nga basomeseza abaana awaka ku leediyo ne ttivvi.
Yagambye nti kino kiragira ddala nti abalowooreza minisitule eno tebamanyi kituufu kigenda mu maaso kubanga amaka mangi tegalina leediyo wadde ttivvi.
Kino kyajjawo oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Museveni okuggala amasomero mu Gwokusatu mu kaweefube w’okuziyiza okusaasaana kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Wano Minisitule y’ebyenjigiriza we yasabira abazadde okugira nga basomesa abaana era n’ekubiriza abayizi okusomera mu leediyo ne ttivvi.
Wabula wiikendi ewedde Pulezidenti Museveni yagguddewo amasomero eri abayizi abagenda okukola ebibuuzo ebimaliriza omutendera ogumu okubatwala mu mulala era n’alagira abayizi abalala okusigala ewaka basomere ku leediyo awamu ne ttivvi.
Kino Besigye agamba nti kikyamu era kyakoleddwa mu nsobi kubanga enteekateeka y’abayizi okusomera awaka egenda kwongera kufiiriza bayizi era nga nekyakukozesa amasomero ga gavumenti okuzibikira eddibu ly’amasomero g’obwa nnannyini agatagenda kuddamu kusoma, kigenda kugakaka okuggalawo.