• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Beene awaddeyo ettaka bazimbireko ab’e Nansana eddwaliro

Gambuuze by Gambuuze
June 29, 2022
in Amawulire
0 0
1
Beene awaddeyo ettaka bazimbireko ab’e Nansana eddwaliro
0
SHARES
71
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange Mmengo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii asiimye naawa banna Rotary  be Nansana awamu ne Munisipaali ye Nansana ettaka bazimbeko eddwaliro  eriri ku mutendera gwa Health Centre IV kiyambe okutumbula eby’obulamu mu kitundu kino.

Ekyapa ky’ettaka lino kibakwasiddwa Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

“Nina essanyu okubategeeza nti nga tuyita mu Buganda Land Board enteekateeka yonna yawedde era ekyapa nga bwekyetaagisa mu mateeka nti gavumenti okutongoza eddwaliro lino wadde ligenda kuzimbibwa Rotary kirina kuba mu mannya ga Nansana Municipal Council era kyamaze okukolebwa nekizzibwa mu mannya go era olwa leero ngenda kukibakwasa,” Owek. Nsibirwa bw’agambye.

Owek. Nsibirwa ategeezezza nti wadde ettaka lino liri mu kifo ky’ennono ky’embuga ya Nakuule naye embuga eno yasigaddewo ate nga ne woofiisi za Buganda Landa Board zisigaddewo ku mbuga eno

Ono annyonnyodde nti abantu beeyongedde mu Nansana ate n’enkulaakulana nayo ebadde ezze nga Buganda ebadde erina okukwatizaako gavumenti okutumbula embeera z’abantu mu by’obulamu n’ebyenfuna.

Owek. Nsibiirwa agamba nti Buganda erina omukago ne Rotary nga wakati mu bwesimbu n’okubeera nti tebasosola mu bantu kyali kyangu okukwatagana nabo okuteekawo enteekateeka eno era nalabula nti singa likozesebwa ku nsonga endala lyakuddira Obwakabaka.

Owek. Nsibirwa era annyonyodde nti  Beene yagenderera kutuusa bujanjabi obutuukiridde era obwomutindo ku bantu be Nansana  nebitundu ebiriranyeewo abali mu bwetaavu bwabwo .

Ye Pulezidenti wa Rotary y’e Nansana, Rebecca Namirembe annyonnyodde nti  ensonga eno etuukira bulungi ku misingi Rotary kweyazimbibwa nti bakukola ekisoboka okuggusa omulimu guno kubanga gwakuyamba  bangi .

Ettaka eriweereddwayo lisangibwa Nakuule mu munisipaali  ye Nansana nga lisuubirwa okumalawo obuwumbi 5 billion era lisuubirwa okumala emyaka 5 nga lizimbibwa.

Share this:

Tags: Kabaka Ronald Muwenda Mutebi IIKatikkiro Charles Peter MayigaNansana Rotary ClubRobert Waggwa Nsibirwa
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist