
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Ebyobulamu n’Embeera z’Abantu mu Bwakabaka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko ategeezezza nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka bw’asiimye naawa abantu be mu ssaza Kooki obujjanjabi ku ndwadde ez’enjawulo basobole okubeera abalamu obulungi.
Obubaka buno Minisita Kikomeko abuwadde asimbula ekibinja ky’abasawo ekikulembeddwamu omukwanaganya w’ebyobulamu mu minisitule ey’enkulakulana y’abantu Muwonge David ku Mmande e Bulange Mmengo nga bano bakumala mu ssaza lino ennaku ssatu nnamba.
Bano, Owek. Nakate abasabye okuwereza Nnyinimu n’okwagala ate nga bakisa eri abantu ba Beene erudda eyo okusobola okukwasizaako Nnyininsi mu kaweefube w’ okutuusa obujjanjabi obusoboka eri abantu be basobole okubeera abalamu olw’Obuganda bwongere okudda ku ntikko.

Nakate yeebazizza bannamikago abetabye mu nteekateeka eno okuli aba Laborex Uganda, abawaddeyo eddagala erigenda okukozesebwa mukuwa abantu obujjanjabi, Yita Life Medical Services abawaddeyo abasawo wamu n’abakung’aanya omusaayi okuva e Mengo, Masaka ne Rakai.
Ono era yeebazizza obukulembeze bwa disitulikiti ye Rakai okuli RDC, Ow’ebyobulamu wamu n’abakungu abalala olw’okusobozesa enteekateeka eno.
Abakugu bano amakanda bakugasimba nga batandikira ku malwaliro agali ku mutendera gwa Health Center IV mu ggombolola ya Ssaabaddu nga 20, August 2024, Mutuba I Kyalulangira nga 21 ne Mumyuka Lwanda nga 22.









