
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’akola enkyukakyuka mu lukiiko lw’Eddiiro lya Katikkiro (Embuga ya Kisekwa) olulamula emisango gy’Ebika.
Enkyukakyuka zibadde mu kiwandiiko ekikakasa amannya g’abalondeddwa nga kino kyafulumiziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, nga Minisita w’ Amawulire n’Okukunga, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yakisomedde bannamawulire ku Mmande mu Bulange e Mmengo.
Olukiiko oluggya lukulirwa, Omuk. Robert Ssonko nga ye Kisekwa, Omumyuka wa Kisekwa ye Omuk. Salim Makeera, Omuwandiisi w’Eddiiro lino y’ Omuk. Lubega Ssebende. Abakiise kuliko; Omuk. Andrew Kibaya, Omuk. Dan Kyagaba, Omuk. Samuel Walusimbi n’Omuk. Jamiru Ssewanyana.
Katikkiro mu kiwandiiko kino ategeezeza nti olukiiko oluggya alwagaliza obuweereza obw’ ebibala era nategeeza nti lwakutuuzibwa amangu ddala ng’olukiiko olukadde lumaliriza emisango gyonna gye lubadde lutandiseeko era lusuubirwa okugimaliriza mu bbanga erinaakkanyizibwako ne Minisita w’Obuwangwa n’Ennono.
Kinajjukirwa nti olukadde lubadde lukulemberwa , Omuk. Joshua Mathew Kateregga era luno lusuubirwa okumaliriza emisango gyelubadde lutandiseeko mu bbanga erinakaanyizibwako ne Minisita w’Obuwangwa n’Ennono.









