• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Beene asiimye abalima emmwanyi, agamba amaanyi ga Buganda gali mukwerwanako

Gambuuze by Gambuuze
February 20, 2024
in Amawulire
0 0
0
Beene asiimye abalima emmwanyi, agamba amaanyi ga Buganda gali mukwerwanako
0
SHARES
25
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa ne Ronald  Mukasa

Kyetume – Buweekula

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye amaanyi abantu be gebataddemu okulima emmwanyi okulaba nga bagoba obwavu.

Omutanda obubaka buno yabutisse Kamalabyonna Charles Peter Mayiga naamulagira abuwe Bannabuweekula  ng’abalambula n’okunyikiza enteekateeka y’Emmwanyi Terimba ew’omulimi Kayengere John ku kyalo Kyetume mu Buweekula.

Katikkiro Mayiga agamba nti Nnyinimu yamulagidde ategeeze Bannabuweekula nti, “Ttegeeza abe Buweekula nti amaanyi gaffe gali mukwerwanako era baneebalize abo abajjumbidde okulima emmwaanyi.”

Wano Kamalabyonna asabye abantu okulabira ku Kansala Kayengere  kuba kyakulabirako kirungi eri abantu batwala era naasaba abakulembeze abalala okumulabirako.

Owek. Mayiga agamba nti wadde Buganda eyagala Federo naye kibeera kiswaza abantu baayo okubeera  abaavu ng’abantu abamu balowooza nti walibaawo omuntu alijja naabawonya obwavu.

Bano Katikkiro Mayiga abasabye buli omu okukola  era beenyigire mu kulima, okulunda oba okusuubula nga basinziira ku busobozi bwabwe.

Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke,  yeebazizza Kayengere olw’okuyigiriza n’okwagazisa omukyala n’abaana okulima ekirime kino.

Ye Omulimi Kayengere John yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’enteekateeka y’Emmwanyi Terimba eyabazibula amaaso awamu naba BUCADEF olw’okubakwatirako ekibayambye okulaakulana.

Katikkiro Mayiga awerekeddwako Minisita w’Obulimi, obutale n’obweggasi Oweek Hajji Amisi Kakomo, Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita wa Kabineeti Olukiiko n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, ne Ssentebe wa Bboodi wa BUCADEF Dr. Benon Muyinza Ssekamatte.

Kinajjukirwa nti Kamalabyonna wa kulambula abalimi mu Ggombolola Ssaabagabo Kasambya, Mutuba I Kitenga, ne Kasaana.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist