Bya Stephen Kulubasi
Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezeza Obuganda nti Ssaabasajja Kabaka asiimye n’agenyiwalako e Bulaaya mu ggwanga lya Germany.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu bimuli bya Bulange bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku lugendo Beene lwe yagenzeeko ku Lwokusatu.
“Nga bwemumanyi nti Kabaka yennyini ye yatandikawo ekitongole kya Kabaka Foundation mu 1995, ensonga n’emirimu gy’ekitongole ekyo bituukira butereevu ku mmeeza ye, emirundi mingi agenda mu nsi ez’enjawulo n’asisinkana abakwasaganya emirimu gya Kabaka Foundation mu nsi ezo. Bano be batukwanaganya ne bannamikago ab’omuzinzi. Kale ensonga emu eyatutte Kabaka e Germany, kutunula mu nsonga za Kabaka Foundation mu nsi eyo.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Owek. Mayiga, Beene agenda kusisinkana n’abasawo abakugu e Germany bongere okwekenneenya obulamu bwe.
Okusinziira ku Katikkiro, abasawo abakugu ababadde bajjanjaba Kabaka be bajulIzza abasawo abakugu oluvannyuma lw’okukitegeera nti Kabaka yabadde asiimye okulambulako e Germany.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti Omutanda w’anaaviira e Germany ng’ekirwadde kya ‘Allergy’ bakijjanjabidde ddala.