Bya Ssemakula John
Mukono
Akabenje kagudde mu Mabira ku makya ga leero nekalumya abantu 17, oluvannyuma lwa bbaasi y’ekika kya YY okulemerera ddeereva waayo n’eva ku kkubo.
Bbaasi eno nnamba UAX 852F egudde ku kyalo Kanyonyi mu Mabira mu disitulikiti y’e Buikwe ng’ebadde eva Kampala okudda e Mbale ng’egudde ku ssaawa emu n’ekitundu ez’oku makya.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu bya Ssezibwa, Hellen Butoto, abantu babiri bamenyese amagulu ate ng’abalala abawera 15 bafunye ebisago ebyamaanyi.
Bano baddusiddwa mu ddwaliro e Kawolo okufuna obujjanjabi. Butoto agambye nti akabenje kano kavudde ku kuvuga ndiima ate ng’obudde bwakaseerezi olw’enkuba eyakedde okutonnya.
Butoto ategeezezza nti batandise okunoonyereza ebisingawo ku kabenje kano naye n’asaba abagoba b’ebidduka okubeera abeegendereza nga bakozesa ekkubo naddala mu budde bw’enkuba.
Eyeerabiddeko ng’akabenje kano kagwayo, Kato Hussein, agambye nti ddereeva alwanye nnyo okutaasa obulamu bw’abasaabaze wamu n’abatuuze kuba akabenje we kagudde e Kanyonyi waliwo amaka g’abantu abawerako.