Bya Francis Ndugwa
Kampala
Wakati nga bannayuganda abasinga basoomoozebwa n’endya embi ebaviiriddemu endwadde n’okulemwa okufuna obulamu obweyagaza, ekiremesezza n’eggwanga okugenda mu mawanga agali yaddeyaddeko.
Abakugu bazudde nti singa omuntu akyusa mu ndya ne yettanira okulya emmere ey’omugaso okusinga okulya obulungi, kino kisobolera ddala okukyuka.
Kizuuliddwa nti ekimu kubisobola okuziba eddibu lino kwe kukozesa n’okulya akawunga ka Soya ekazuuliddwamu ekirungo emigaso egiyamba ku mubiri okulwanyisa endwadde eziva ku ndya embi.
Kino kyekireetedde ekitongole ky’ensi yonna ekya ‘World Initiative for Soy in Human Health’ okutandika enteekateeka y’okusikiriza bannayuganda okwettanira okukozesa akawunga kano mu kaweefube atuumiddwa ‘Soy flour for Modern Bakers.’
Bw’abadde ayogera ku nteekateeka eno, omu ku basinga okukozesa ekirime kya Soya, Charles Nsubuga, ategeezezza nti Soya mulungi eri obulamu bw’abantu era n’abasaba okwettanira obuwunga obumuvaamu era babweyambise okutumbula endya yaabwe.
“Ebintu ng’amandaazi, emigaati ne kkeeki ezikoleddwa mu Soya, bibeera n’ekiriisa kingi okusinga ku birala mw’atali era tusaba bannayuganda bamukozese kuba emigaso alina mingi.” Nsubuga bw’agambye.
Okusinziira ku kitongole kino ekya ‘World Initiative for Soy in Human Health,’ enteekateeka eno egenda kutongozebwa mu Uganda okuyambako okwagazisa abantu okukozesa Soya naddala obuwunga obumuvaamu okutumbula bbizineesi zaabwe naddala ezo ezikola kkeeki, emigaati wamu n’ebyokulya ebirala.
Enteekateeka eno yaakutandikira mu disitulikiti eziwera 6 okuli; Wakiso, Mukono, Mpigi, Masaka ne Jinja era ejja kulagibwa ku mikutu gy’amawulire omuli; Ttivi ya BBS Terefayina , empapula ne leediyo ezitali zimu era erimu n’okuwangula ebirabo ebiwerako.
Ekitongole kino ekya ‘World Initiative for Soy in Human Health (WISHH)’ kigamba nti omufumbi yenna ow’omulembe guno alina okwekwata obuwunga bwa Soya bw’aba ayagala okwongera okufuna mu mulimu gwe.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ekitongole kya ‘World Initiative for Soy in Human Health (WISHH)’ ekyatandikwa abalimi ba SOYA mu ggwanga lya Amerika okuyambako okukitunda wamu n’okukubiriza abantu okumulima kiyambe abantu okufuna emmere ebamala.