Bya Ssemakula John
Nakisenyi
Olukiiko lwa Disitulikiti ye Ssembabule olutudde eggulo lwayisizza ekiteeso ekisiima emirimu egyakoleddwa Omulangira Sebastian Kitayimbwa Mumiransanafu eyafa obulwadde bw’omutima ku lunaku lwa Mmande.
Olutuula luno lubadde lukubirizibwa Sipiika Pheobe Arinaitwe era mukiseera kyekimu n’olwessaza olwabadde lukubirizibwa Emmanuel Ssekimpi nalwo lwamusiimye olw’okutumbula n’okuleetawo enkulaakulana mu Mawogola.
Sipiika Arinaitwe yategeezezza nga omugenzi bweyakola ennyo okulaba nga disitulikiti ye Ssembabule yekutula ku Masaka era nga obulamu bwe abadde ayagala nnyo abantu be Ssembabule okubeera obulungi nga abakubiriza okukola bakyuuse obulamu.
Omumyuka wa Ssentebe wa Distulikiti Jude Kiganda ne banne awatali kweyawulamu basembye ekiteeso kino era nebasalawo ekisaawe ky’essaza kikyusibwe erinnya kifuuke St. Sebastian nga akabonero akongera okusiima omugenzi.
Emmanuel Ssekimpi nga ono mukwano gw’omugenzi yatenderezza Omulangira Kitayimbwa nategeeza nga ono bwabadde omusajja ayimirira ku kigambo kye n’amazima akaseera konna era kino kyelaga lwattu mu biseera weyaberera ku kakiiko akagaba emirimu.
Omugenzi Kitayimbwa agenda kuziiikibwa leero mu makaage ku kyalo Ndaiga mu ggombolola ye Nakisenyi mu disitulikiti y’e Ssembabule.