Bya Ssemakula John
Busiro
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Entambula za Ssaabasajja era avunaanyizibwa ku nsonga z’abantu ba Kabaka wabweru wa Buganda, Owek Joseph Kawuki akuutidde abaami abatwala eggombolola ez’enjawulo mu ssaza Busiro okunyweza ennono ey’obumu wakati mu kutambuza obuweereza bwabwe.
Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse omwami wa Kabaka atwala essaza Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala ku mukolo ogw’okutuuza Omwami w’eggombolola ya Ssaabaddu e Ntebe, Ssaabaddu, Edward Musoke.
Katambala Magala asinzidde wano n’asaba abakulembeze ba gavumenti eyaawakati okuwaayo ebizimbe ebiri ku ggombolola eno bidde mu mikono egy’Obwakabaka kuba abantu b’Omutanda tebalina we bakolera.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Charles Kiberu Kisirinza ategeezezza nga bwe balina enteekateeka engazi okukulaakulanya essaza lino bw’atyo n’agamba nti baakukolagana butereevu n’abaami abalondeddwa, okulaba nga bateeka mu nkola Ssemasonga ettaano Buganda kw’eyimiridde.
Ate e Kyaddondo, Omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa yatuuzizza omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Mituba V mu ssaza Busiro.
Kinajjukirwa nti Beene yalonda Joseph Mutebi akulembera eggombolola eno era oluvannyuma lw’okutuuzibwa ategeezezza nga bw’agenda okuweereza n’omutima gwe gwonna oluvannyuma lw’okumala ebbanga eriwerako ng’aweereza Obuganda.