Bya Ssemakula John
Nalufenya
Omwogezi w’ekibiina kya National Unity Platform, Joel Ssenyonyi, ategeezezza nti ab’ebyokwerinda wamu n’abakulira poliisi ye Nalufenya mu Jinja, babalemesezza okulaba pulezidenti w’ekibiina kyabwe, Robert Kyagulanyi Ssentamu, eyakwatiddwa olunaku lw’eggulo.
Ssenyonyi ategeezezza nti wadde mukama waabwe yakwatiddwa tebagenda kulekayo kukubiriza bannayuganda kubanja nkyukakyuka basobole okweyagalira mu nsi yaabwe.
Ono agamba nti famire ya Kyagulanyi ne bannamateeka be bagaaniddwa okumulaba mu kkomera ly’e Nalufenya gy’akuumirwa n’okutuusa essaawa ya leero.
“Twazze wano okulaba Kyagulanyi naye bakyatulemesezza okumulaba, okukwatibwa kwa Kyagulanyi kagenderere naye tugenda kutandikira we twakomye olunaayimbulwa.” Ssenyonyi bw’agambye.
Ssenyonyi atangaazizza nti ekikung’aanya abantu kyagulanyi w’abeera y’ensonga y’okuba nti baagala nkyukakyuka ogutali musango.
Awakanyizza eky’okuba nti Bobi Wine yakwatiddwa lwa kumenya mateeka ga Ssennyiga Corona n’agamba nti aba NRM bakyagenda mu maaso n’okukung’aanya abantu kyokka nga tewali kibakolebwako.
Ssenyonyi alabudde gavumenti okukomya okutulugunya bannansi kubanga beetegefu okusigala nga babanja eddembe lyabwe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, eggulo yategeezezza nti Kyagulanyi yakwatiddwa lwa kugaana kugondera biragiro bitangira Ssennyiga Corona.
Kino kyatabudde abantu mu bitundu ebyenjawulo ne batandika okwekalakaasa era ng’okusinziira ku poliisi, abantu 3 baafiridde mu kwekalakaasa kuno ate abasoba mu 30 ne bagendera ku bisago ebyamaanyi.