Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu etongozza okusonda ensimbi ez’okumanyisa abantu ekirwadde kya Nnalubiri (Sickle Cells) wamu n’okukirwanyisa, kiyambe okutaasa obulamu bwa bannayuganda abakirina nga tebamanyi.
Kaweefube ono yatongozeddwa omuwandiisi ow’enkalakkalira owa Minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine, wali ku kitebe kya Minisitule mu Kampala.
Atwine ategeezezza ng’omukago guno bwe bagukoze ne CTI Africa, Uganda Sickle Cell Rescue Foundation awamu ne The Doc Talk Show kiyambe abantu okwongera okunnyonnyoka ekirwadde kino kubanga abasinga baliyita ddogo.
Okusinziira ku Atwine, enteekateeka eno egendereddwamu kwongera kumanyisa bantu ku kirwadde era n’okulaba ng’abantu bakeberwa ekirwadde kino ku bwereere.
Ssente ezigenda okuva mu kaweefube ono zigenda kweyambisibwa okuteekawo ekitabo kyabo abalina ekirwadde kino okusobola okubawa obujjanjabi obusaanidde, okumanyisa abantu ku kirwadde kino n’okubakebera era nga bano bagenda okuweebwa essimu zirumamyo eziwera omutwalo mulamba.
“Okunoonyereza kulaga nti abantu abalina obubonero bw’ekirwadde kino bali ebitundu 13.3 ku 100 era omuwendo guno guli waggulu. Kino kitegeeza tulina okukebera abafumbo okulaba nga tebalina butofaali buno awamu n’abaana abaakazaalibwa.” Dr. Atwine bw’annyonnyodde.
Dr Atwine atenderezza bannamukago bonna abavuddeyo okulaba ng’abalwadde ba Nnalubiri bafuna okuyambibwa mu bwangu.
“Abantu baffe mu byalo tebamanyi we balina kuggya bujjanjabi.
Obulwadde buno bukambwe kubanga butandika okutawaanya abaana nga bakyali bato era balina bingi bye beeresa okusobola okusigala nga balamu. Bano beetaaga okubudaabuda n’okubafaaka.”Atwine bw’ategeezezza.
Agambye nti buli nnusu egenda okusondebwa egenda kuyamba omwana yenna alina ekirwadde kino n’asaba abantu okuwaayo.
Omwogezi wa CTI Africa, Davidson Mihigo, asuubizza okwongera okukwasizaako minisitule y’ebyobulamu okulaba nga bannansi bafuna obujjanjabi obulungi.
Ye Dayireekita w’ebyobulamu mu minisitule eno, Dr. Henry Mwebesa, asuubizza nga Minisitule eno bw’egenda okwongera okunyweza emikago nga gino egiyamba abalwadde ba Nnalubiri okufuna obulamu obweyagaza.