Bya Muwuluzi Yusuf
Masaka -Buddu
Gavumenti etongozza enteekateeka ey’okugaba n’okwongera okubangula abantu okusula mu butimba bw’ensiri mu bitundu bya Buganda, kiyambeko okuziyiza omusujja gw’ensiri.
Enteekateeka eno etongozeddwa ku ggombolola ye Kyanamukaaka mu Buddu, nga gwetabiddwako ebikonge okuva mu Bwakabaka omuli; Minisita Nankindu, Minisita Noah Kiyimba n’abakulu okuva mu gavumenti eyaawakati.
Mu kaweefube ono obutimba obukadde 27 bwe bugenda okugambibwa mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo.
Omubaka w’ekitundu kino era omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi, yasabye bannansi okufaayo okulwanyisa ekirwadde nga basula mu butimba bw’ensiri kuba kino kubanga kidobonkanya ebyenfuna yaabwe.
Bwe yabadde ayogerako eri bannabuddu abeetabye ku mukolo guno, Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Prosperous Nankindu, yennyamidde olw’abaami ku by’obulamu mu maka nga tebafaayo kusula mu butimba buno yadde okubusaba gye babugaba.
“Njagala okuwa Gavumenti yaawakati amagezi okweyambisanga Obwakabaka okutuusa obubaka mu bantu naddala obukwata ku by’obulamu, kuba eddoboozi lya Kabaka, abantu baliwulira nnyo.” Owek. Nankindu bwe yagambye.
Ku lwa gavumenti eyaawakati, Minista w’ebyobulamu ebisookerwako, Robina Nabbanja, akkaatirizza nti ekigendererwa kya gavumenti kwe kulaba ng’omwaka 2030 we gunaatuukira ng’ekirwadde ky’omusujja gw’ensiri tekikyali kizibu.
Ono yasabye abantu okutwala omukisa guno era obutimba buno babukozese omulimu ogububaweesezza.
Ate akulira ebyobulamu e Masaka, Dr.Stuart Musisi, yagambye nti omuwendo gw’abantu abatawaanyizibwa ekirwadde kino gukendedde wadde nga wakyaliwo abakozesa obubi obutimba buno.
Omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti ye Masaka, Janat Kisekka, asinzidde wano n’alabula okuteekawo etteeka eribonereza oyo yenna asangibwa ng’akozesa obubi obutimba buno naddala ababukozesa okulundiramu enkoko.