• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Batongozza okugaba obutimba bw’ensiri mu Buganda

Gambuuze by Gambuuze
November 8, 2020
in Eby'Obulamu
0 0
0
Batongozza okugaba obutimba bw’ensiri mu Buganda
0
SHARES
26
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Muwuluzi Yusuf

Masaka -Buddu

Gavumenti etongozza enteekateeka ey’okugaba n’okwongera okubangula abantu okusula mu butimba bw’ensiri mu bitundu bya Buganda, kiyambeko okuziyiza omusujja gw’ensiri.

Omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi wakati, Minisita Robinah Nabbanja, Owek. Prosperous Nankindu, Owek. Noah Kiyimba n’abalala nga batongoza okugaba obutimba bwensiri mu Buganda

Enteekateeka eno etongozeddwa ku ggombolola ye Kyanamukaaka mu Buddu, nga gwetabiddwako ebikonge okuva mu Bwakabaka omuli; Minisita Nankindu, Minisita Noah Kiyimba n’abakulu okuva mu gavumenti eyaawakati.

Mu kaweefube ono obutimba obukadde 27 bwe bugenda okugambibwa mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo.

Omubaka w’ekitundu kino era omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi, yasabye bannansi okufaayo okulwanyisa ekirwadde  nga basula mu butimba bw’ensiri kuba kino kubanga kidobonkanya ebyenfuna yaabwe.

Bwe yabadde ayogerako eri bannabuddu abeetabye ku mukolo guno, Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Prosperous Nankindu, yennyamidde olw’abaami  ku by’obulamu mu maka nga tebafaayo kusula mu butimba buno yadde okubusaba gye babugaba.

“Njagala okuwa Gavumenti yaawakati amagezi okweyambisanga Obwakabaka okutuusa obubaka mu bantu naddala obukwata ku by’obulamu, kuba eddoboozi lya Kabaka, abantu baliwulira nnyo.” Owek. Nankindu bwe yagambye.

Ku lwa gavumenti eyaawakati, Minista w’ebyobulamu ebisookerwako, Robina Nabbanja, akkaatirizza nti ekigendererwa kya gavumenti kwe kulaba ng’omwaka 2030 we gunaatuukira ng’ekirwadde ky’omusujja gw’ensiri tekikyali kizibu.

Ono yasabye abantu okutwala omukisa guno era obutimba buno babukozese omulimu ogububaweesezza.

Ate akulira ebyobulamu e Masaka, Dr.Stuart Musisi, yagambye nti omuwendo gw’abantu abatawaanyizibwa ekirwadde kino gukendedde wadde nga wakyaliwo abakozesa obubi obutimba buno.

 Omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti ye Masaka, Janat Kisekka, asinzidde wano n’alabula okuteekawo etteeka eribonereza oyo yenna asangibwa ng’akozesa obubi obutimba buno naddala ababukozesa okulundiramu enkoko.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist