Bya Ssemakula John
Namung’oona
Abakungubazi okuva mu nsonda z’eggwanga ez’enjawulo bakedde ku Eklesia y’Omutukuvu Nicolas e Namung’oona, okwetaba mu kuziika abadde Ssaabasumba w’Abasodokisi Yonah Lwanga eyafa ku ntandikwa y’omwezi guno mu kibuga Athens ekya Buyonaani (Greece).
Omukolo gw’okuziika Ssaabasumba Lwanga gwetabiddwako abanene mu ggwanga nga bano bakulembeddwamu omumyuka w’omukukembeze w’eggwanga, Maj Gen. Jessica Alupo nga y’akiikiridde Pulezidenti w’eggwanga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, akulira ekibiina kya NUP, Kyagulanyi Ssentamu Robert, akuuma entebe ya Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Omusumba Paul Ssemwogerere, Ssaabalabirizi Steven Kaziimba Mugalu.
Abalala kubaddeko; akulira olukiiko lw’abeepisikoopi Bishop Anthony Zziwa, akulira oludda oluwabula gavumenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, akulira ekibiina Kya ANT, Gen Mugisha Muntu, ababaka ba Palamenti ne bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo.
Ku lulwe, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga atenderezza obuvumu Ssaabasumba Yonah Lwanga bw’abadde nabwo mu kulwanirira eddembe ly’obuntu.
“Mu mirimu Ssaabasajja Kabaka gye yankwasa ntambudde bulungi ne Ssaabasumba Yonah Lwanga. Buli lwe wabaddewo ensonga yonna ng’ankubira essimu oba ng’ampandiikira.” Katikkiro Mayiga bw’agasseeko.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti omugenzi abadde ayogera ku bikyamu mu ddoboozi ery’omwanguka era abadde muntu ayagala ennyo abantu era ng’abalwanirira mu mbeera zonna era abadde omusajja omwesimbu n’asaba abalala okumulabirako.
Eyakiikiridde Pulezidenti, Jessica Alupo atenderezza enkolagana ebaddewo wakati w’Ekelesia ne gavumenti era ne yeeyama okugitwala mu maaso.
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine mu kwogera kwe, ageraageranyizza Ssaabasumba Lwanga ku Ssaabalabirizi Janan Luwumu olwobutekkiriranya; ng’ebikyamu ebikolebwa ku bantu abadde avaayo n’abyogerako kkaati era ono ebigambo bye tebyawukanye n’ebyakulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba.
Mu ngeri y’emu, Kyagulanyi asabye abantu okwefumiitiriza ku mukululo Ssaabasumba Lwanga gw’alese.
Ssaabasumba Lwanga aziikiddwa mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu ku ssaawa 9 ez’olweggulo era akubiddwa emizinga esatu okusiima emirimu gy’akoledde eggwanga.