Bya Ssemakula John
Makindye
Kkooti y’amagye etuula e Makindye esibye absajja babiri buli omu emyaka ena, lwakusangibwa n’emmundu wamu n’amasasi mu bukyamu, ekintu ekimenya amateeka.
Ababiri bano kuliko; Banuli Lubanga ow’emyaka 34 eyali omusirikale w’amakomera ng’akuuma ku kkomera e Kigo ne David Okello ow’emyaka 20, akakiiko ak’abalamuzi omusanvu nga kakulirwa Lt. General Andrew Gutti ke kabakalize.
Ssabbiiti bbiri eziyise bano baavaaayo nebakkiriza omusango era nga babadde balinda lunaku lwa leero basobole okubasalira.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti nga 22/06/2020, Banuli ne Okello baasangibwa n’emmundu ng’erimu amasasi ekintu ekimenya amateeka.
Bano baali balumbye essundiro ly’amafuta elya Total nga lya munnabyabufuzi Dr. Kiiza Besigye e Nsambya mu Kampala okulinyaga.
Banuli ne Okello omusango baasooka kugwegaana naye ate nebagukkiriza lwe badda mu kkooti nga 5/10/2020 era munnamateeka waabwe, Maj. Silas Kamanda Mutungi n’asaba babakendereze ku kibonerezo.
Wano oludda oluwaabi nga lukulirwa Capt. Ambrose Baguma lwasaba bano baweebwe ekibonerezo ekikakali babonerere kubanga omuze gw’okubbisa emmundu gucaase nnyo ensangi zino.
Wabula Looya Mutungi ategeezezza kkooti nti bano guno gwe mulundi gwabwe ogwabadde gusoose okuzza omusango era nga tebamaze budde bwa kkooti ate ng’embeera ya Banuli ebadde efuukidde ab’ekkomera kizibu kubanga basitula musitule oluvannyuma lw’okufiirwa okugulu mu lulumba lwe baakola ku ssundiro lino aba Flying Squad nebabakwata.
Wano Lt. Gen Gutti, annyonnyodde kkooti nti bwe batunuddemu mu bujulizi bw’enjuyi zombi asazeewo babasibe emyaka ena n’emyezi ettaano naye kuno bajja kutolako ebbanga lyebamaze mu kkomera okuva mu June wa 2019.
Kati, bano baakumala emyaka esatu n’ennaku 3 mu kkomera e Kigo gy’abasindise ng’ekibonerezo kino kitandise olunaku lwa leero.