![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/Masks-1024x683.jpg)
Bya Musasi Waffe
Kampala
Abakulembeze mu Kampala basabye gavumenti eyongere okugabira abantu obukookolo (Masiki ) kubanga abantu abasinga tebafunye.
Gyebuvuddeko gavumenti yali yatongozza okugaba masiki mu bitundu bya Kampala eri abantu okuva ku myaka 16 n’okudda waggulu mu kaweefube w’okugezaako okubatangira ekirwadde ki COVID19.
Okugaba masiki kuno kwatandikira ku disitulikiti eziri ku nsalo z’eggwanga mu mwezi gw’omukaaga n’oluvanyuma nebagattako ebitundu ebirala. era nga mu Kampala ekitongole ki KCCA kyaweebwa masiki 2, 067,500 zekyalina okugaba.
Ssentebe wa zooni wa Budonian mu Kisenyi ku kyalo Mengo Moses Kawuma, yagambye nti yawereddwa masiki 1000 era nalugaba neluggwawo wabula nga bangi ku batuuze tebafunye abamu nebatuuka n’okumunyigira.
Ate ye Israel Musaazi Ssentebe wa Kifumbira Zzooni e Kamwokya yagambye nti yawereddwa masiki 8000 wadde nga abatuuze balina basoba mu mutwalo omulamba.
E Gogonya zooni II mu divizoni ye Makindye, kansala w’ekitundu kino Jane Namukasa, yakukkulumye nti bawereddwa masiki 1300 zokka wadde nga kiriko abantu abasoba mu 9000.
Ate bbo abamu ku batuuze abawereddwa masiki zino bategeezezza nga bweziri entono ennyo nga n’omutindo gwazo mubi nnyo.
“Ki masiki kigumu nnyo omuntu abeera tasobola nakusa nezaffe zetwegulira zizisinga,” Catherine Akech bweyategeezezza.
Kinajjukirwa nti omulimu guno gwaweebwa kkampuni mukaaga era kuzino kuliko; Lida Packaging Products Limited, Southern Range Nyanza Limited (Nytil) Evergreen Safaris Limited, Jude Color Solutions Limited, Winfred Fashion designers Limited ne Fine Spinners Limited wadde nga ekitongole ky’omutindo kyali kyakkiriza kkampuni 49.