BYA BETTY NAMAWANDA
MASAKA-BUDDU
Omwami wa kabaka atwala essaza ly’e Buddu, Ppokino Jude Muleke, asabye Abaami ba kabaka ku mitendera egy’Amagombolola n’Emiruka awamu n’Abatongole, okukola ekisoboka okulaba nga bakuma ettaka ly’Obwakabaka mu bitundu yonna gye bali naddala mu kibuga Masaka lireme okutwalibwa.
Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse omumyuka we nnamba ssatu, Muwalimu Kato Abudallah, mu nsisinkano n’abakulembeze b’eggombolola y’Obwakabaka eya Mituba 3 Mukise e Mukungwe wano mu kibuga Masaka.
Bano baabadde bakiise ku mbuga y’essaza Buddu e Masaka mu nkola yokudduukirira okuzimba amaka g’Obwappookino agamanyiddwa nga Buddukiro. Baawaddeyo ettu lya kakadde kamu okudduukirira omulimu guno.
Abaami ba Kabaka okuva mu ggombolola eno baakulembeddwamu Omwami wa Kabaka akulembera Mukise, Dr. Herman Musiitwa era nga bwe baatuuse ku mbuga y’essaza baasoose kulambuzibwa omulimu gw’okuzzaawo ekitiibwa kya Buddu we gutuuse. Kinajjukirwa nti mu mwaka oguwedde, Ppookino yatongoza omulimu ogw’okuzzaawo ennyumba y’Obwappookino, Buddukiro nga gwakumalawo obukade 260. Ennyumba eno yonna yasereekululwa kyokka nga kati akasolya kawedde n’okaserekwa nga kati abakola oluggya batandise okuluteekateeka, ne munda okukubayo engalama, ekyasanyusizza abaakiise.
Dr. Herman Musiitwa omwami atwala eggombolala eno eya Mituba esatu Mukise, yasabye abantu okwongera okukwatizaako Ppookino mu kaweefube w’okuzza Buddu ku ntikko.
Mungeri yemu bamulopedde nga abantu b’eggombolola eno bwebali abalimi nabalunzi kyoka nga abasubuzi be mmwanyi babadondola ekisuse
Mu kwogera kwe, Omumyuka wa Ppookino nnamba 3, Muwalimu Kato Abudallah, yategeezezza nti nti ekibbattaka kingi ensangi zino ate ng’eggombolola gye/bakulembera yonna eri mu kibuga Masaka awali ettaka ery’ettunzi ennyo. Yabasabye okukola buli ekisoboka obutaganya ttaka lya Bwakabaka kubbibbwa nga batunula butunuzi.
Mu ngeri yeemu, yabeebazizza nnyo olw’ettu lye baawaddeyo n’abakakasa nti omulimu gwakumalirizibwa mu bwangu.