• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Basabiddwa okwettanira omukutu gwa K2 -Eggumidde

Gambuuze by Gambuuze
May 26, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Basabiddwa okwettanira omukutu gwa K2 -Eggumidde
0
SHARES
81
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda ne Uganda okwettanira omukutu gwa K2- Eggumidde  okusobola okuganyulwa mu mpeereza ey’omulembe era bakulaakulane.

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna, bw’abadde atongozza enteekateeka y’okubunyisa enjiri ya Airtel -K2 Egumidde mu masaza ga Buganda ag’enjawulo  nga ali wamu ne bannamukago okuva mu kampuni ya Airtel.

“Emikago gikula bwe wabaawo obwesigwa wakati we njuyi zombi era nkakasa aba Airtel nti Obwakabaka bujja kukola ekisoboka okukuuma omukago ogukoleddwa. Bw’oba oyagala okubaako by’okola tambula naabalina ensa, nga K2 bwe yakola ku Airtel ” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga ategeezezza  nti okuva lwe batta omukago ne Airtel mu 2018, K2 yajjula, era kati K2 eggumidde  era n’obuweereza bwayo buggumidde nasaba abaami ab’Amasaza okukola obwa kitunzi bwa K2 mu Masaza gaabwe era bajagazise abantu.

Akuutidde abaweereza bonna mu Bwakabaka okwettanira Obuweereza bwa K2.  Agambye nti tewakyali nsonga yonna lwaki Minisita wa Kabaka; Ssenkulu, oba omuweereza wa Kabaka yenna alemererwa okukozesa K2 ng’ate eggumidde.

Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Minisita w’Ebyensimbi n’Okuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, annyonnyodde  nti nga bayita mu nkola ya K2 eggumidde, baagala abantu ba Kabaka bakole bizineensi s nga bakozesa K2 eggumidde.

Owek. Waggwa agamba nti mu byenkizo K2 byerina kati by’ebyempuliziganya, amayengo n’okutambuza n’okutereka ensimbi awamu n’okuzisiga era abantu ba Nnyinimu basobole okufunirako amagezi ag’enjawulo nga bakozesa omutimbagano ku bbeeyi esinga okubeera wansi.

Ssenkulu wa Airtel mu Uganda, Manoji Murali, agambye nti eky’enkizo ekiri ku Buganda kye ky’okuba nga abantu ba Kabaka bali mu buli kitundu kya Uganda, era oli asobola okusinziira gy’ali naawagira emirimu gya Kabaka nga anyiga *173# ne bw’aba talina line ya 0708 oba 0709.

Ssenkulu wa K2 Telecom, Omuk. Arthur Mawanda, alaze  nti mu kiseera kino K2, ewezezza ba kasitoma abasukka akakadde kamu (1m) nga bano bagenda kuganyulwa butereevu mu nkola empya ezijjidde mu kikapu kya K2 eggumidde omuli ‘internet’ edduka sipiidi, okusindika ssente n’ebirala.

Mu nteekateeka eno, Katikkiro Mayiga akwasizza Abaami b’Amasaza essimu ekika kya sseereza eziweereddwayo aba Airtel bagende bakubirize abantu ba Kabaka beeyunge ku mukutu gwa K2 eggumidde.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.