Bya Ssemakula John
Butambala
Bannabutambala batandise kaweefube w’okunoonya ssente ezigenda okuddaabiriza ekitebe ky’ essaza lino ekisangibwa e Kabasanda kisobole okutuuka ku mutindo oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Kaweefube ono akulembeddwamu Katambala Hajji Sulaiman Magala era nga yamutongoza ku Lwokusatu ku kitebe ky’essaza oluvanyuma lw’okuyisa ekiteeso ekyawagiddwa abakiise bonna awatali kwesalamu.
Katambala Magala kino yakikoze wamu n’okulikiiko lwe oluvanyuma lw’olukiiko olukulembera essaza okuyisa ekiteeso awatali kwekutulamu balabe nga bakyusa endabika y’ekitebe kino.
Katambala yategeezezza nti, “Leero bannabutambala bakungaanye nebatema omusingi gw’okuddabiriza enju ya Katambala, tumaze okubalirira era nga twetaaga obukadde 200 era olukiiko lugenda kutongozebwa mu maaso. Nkowoola abantu bonna kubanga ekizimbe kino ssi kyange naye kya Katambala anajja nabaliddawo.”
Ono yanyonyodde nga omulimu guno bwegugenda okukolebwa n’obwegendereza kisobozese okuggyayo ekifananyi ekituufu eky’essaza era nga agusuubira okumalirizibwa mu mwezi gw’okubiri ogw’omwaka ogujja.
Katambala yagambye nti basuubira ensimbi zino okuva mu bannabutambala wamu n’emikwano gya Butambala kubanga bangi batandise dda okumutuukirira nga bagala okwenyigiramu.
Omuwanika w’essaza lino Hajji Kaaya Mulengera, yanyonyodde nga ekizimbe ky’embuga bwekiri mu mbeera embi era nga balina essuubi nti ekizimbe kino okuddaabirizibwa kijja kuyamba okuzza Buganda ku ntikko.
Bbo abakiise ku lukiiko lw’essaza bakakasizza nga bwebali abamalirivu okulaba nga omulimu guno guggwa mu bwangu.