Okuva ekirwadde ki COVID19 lwekyabalukawo, bannayuganda tebafuuka baganiriza abataagala kusaasaanya ssente bwogerageranya nakaseera nga COVID19 tanabalukawo.
Gavana wa Bbanka enkulu Tumusiime Mutebile yategezezza nti kino kivudde kukubeera nga tebamanyi kiddako nkya.
“Abantu bangi tebakyayagala kusaasaanya ssente ensangi zino olw’okutya okufuna obulwadde bwa Kolona ate nga abalala tebamanyi kiddako ku nnyingiza yabwe”, Mutebile bweyategezezza
Mutebile yeewunyizza okulaba nga n’abantu abatakosebwa mu nnyingiza yabwe okulaba nga nabo tebagala kuvaako wadde ennusu nagamba nti kino sikirungi eri eby’enfuna by’eggwanga.
Ono yanyonyodde nti olw’okuba abantu tebakyayagala kubaako kyebagula, bizineensi nyingi zigenda kutubira n’ebintu nga tebalaba babigula ekinavaamu be bakola mu kkampuni zino okusalwako ku mirimu.
Kinajjukirwa nti bannayuganda bangi bafiirwa emirimu gyabwe wakati w’omwezi gwa March ne July era nga kyava ku bantu abali bataagala kwegyako ssente yonna.
Bino Mutebile okubyogera yabadde asoma alipoota ku wa eby’ensimbi webiyimiridde ey’omwezi gwa August 2020 ku Mmande ku kitebe kya Bbanka enkulu mu Kampala.