Kampala
Okunoonyereza kulaze nti Bannayuganda abawerera ddala ebitundu 74 ku buli 100 tebalina bwesige mu gavumenti kusemberera ssente ezigendereddwamu okuddabulula y’ekirwadde kya sennyiga Corona eyakosa buli kimu nokutyoboola eby’enfuna.

Bino bizuuliddwa ab’ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) mu kunoonyereza kwe kyakoze nga bayambibwako aba bbanka y’ensi yonna.
Kitegeerekese nti ebitundu ebisoba mu nsanvu tebakkiriziganya na makubo ga gavumenti gayitamu buyambi okubayamba mu mbeera eno nga batya nti zino ziyinza okunyagibwa abanene mu ggwanga neziremwa okutuuka wansi mu bantu.
UBOS ne bbanka y’ensi yonna era bakoze okunoonyereza okulala ku ngeri ekirwadde kya Ssennyiga corona gye kikosezzaamu abantu wakati w’omwezi gwa May –June wamu ne July – August, era ng’abantu bawerera ddala enkumi bbiri mu bana (2400) okwetooloola eggwanga lyonna.
Okunoonyereza kuno kwagendereddwamu okulaga abateekerateekera eggwanga ku kituufu kye balina okukola okuyamba abantu okuvvuunuka embeera eyaleetebwa ekirwadde kya Corona.
Abantu 4 ku 5 abaabuuziddwa bakkiriziganyizza nti enguzi y’esinze okusuula omutindo gw’ebyobujjanjabi mu ggwanga. Kino kitegeeza nti ebitundu 81 ku buli 100 bakkaanya ng’embeera embi ebyobulamu gye birimu mu ggwanga, bw’eva ku bulyi bw’enguzi.
Oluvannyuma lw’ekirwadde kino okubalukawo, Bannayuganda bangi baawaayo ebintu omwali; emmotoka, emmere, ssente n’ebintu ebirala okuyambako ku gavumenti okudduukirira ku bantu abaali batakyalina kyakulya, era ng’omwezi gwa May we gwaggweerako nga ssente obuwumbi 28 ze zaali zikung’aanyiziddwa ab’akakiiko ka National Covid-19 Response Fund.
Gavumenti yasalawo okugabira bannansi emmere ku bwereere wadde ng’abamu ku bakulembeze baawulirwa nga basaba abantu baweebwe ssente mu kifo ky’emmere.
Wadde nga gavumenti y’Amerika ng’eyitira mu kitongole kya Give Directly yali esazeewo okuwa Bannayuganda emitwalo 10 buli omu okumala emyezi esatu zibayambeko okwebeezaawo, kino tekyasoboka oluvannyuma lw’ekitongole ekirung’amya ebitongole by’obwannakyewa okutandika okubuuliriza ku buyambi buno.
Wabula nga n’omulundi guno bannansi bali mu kutya nti ssente zino zigenda kubbibwa abakulu mu gavumenti.
Okunoonyereza kuno kuzudde ng’abantu abasinga bwe tebasobola kufuna bintu ebiyamba okwetangira Ssennyiga Corona omuli; ssabbuuni, eddagala n’obujjanjabi. Era ng’omuntu 1 ku 10 abaabuuziddwa eyandiyagadde okulaba omusawo omukugu naye nga talina busobozi mu by’ensimbi.
Eyakuliddemu okunoonyereza kuno, Henry Mubiru, yagambye nti wadde abantu abasinga bamanyi engeri gy’okwetangira Ssennyiga Corona nga bambala obukookolo naye abamu ku bantu abalina obuyigirize obutono, kino bakijeemera bw’ogerageranya nabayigirize.
Era kyazuuliddwa nti Bannayuganda bwe balaba obubonero bw’ekirwadde kino ate bagaana okugenda mu malwaliro okubakebera.