
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Bannayuganda basabiddwa okufaayo okwetangira endwadde ezitali zimu bweba baagala okulaakulana n’okukyuusa embeera yabwe olwo Buganda edde ku ntikko.
Okusaba kuno kukoleddwa Omulangira Felix Muteesa bw’abadde atikkula Amakula okuva mu bannassingo mu lubiri e Mmengo ku Lwokubiri.
Bano Muteesa abasabye okwewala endwadde zinamutta basobole okubeera abalamu kuba abantu abalamu bokka be basobola okulaakulanya ensi Buganda.
Omulangira era abakubiriza okuba abakozi nga lwebagya okusoboola okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe .
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu asabye abazadde okwongera okugumiza obuvunqnnyizibwa bwabwe eri abaana okuteekateeka eggwanga eryenkya erituukiridde.

Ye Omwami wa Kabaka amulamulirako eggombolola ya mumyuka Busimbi David Ssendikadiwa agamba nti basoomozebwa enjala kyokka nakakasa nti olw’obukulembeze obulungi ebisoomozo bagezezaako okubirinya ku nfeete.
Mukwenda eyawummula era omukiise wa Ssingo mu lukiiko lwa Buganda owek. Stanley Kijjambu yeebaziza banassingo olw’okufaayo okutuukiriza ennono yabwe nga lino ryerimu ku makubo ag’okuzza Buganda ku ntikko
Amakula gano gavudde mu ggombolola ya Mumyuka Busimbi okuva mu ssaza lye Ssingo.









