![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/10/rexbaaa-300x206.png)
Bya Musasi Waffe
Bannayuganda yonna gye bali basabiddwa okwenyigira obutereevu mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi kisobozese eggwanga okukulaakulana kuba ssente nnyingi eggwanga lye zifiirwa.
Obubaka buno bubaweereddwa Ssenkulu w’Ekitongole kya Ssaabasajja ekivunaanyizibwa ku butale n’ebintu bye ekya REXBA, Omuk. Robert Ssewava mu Lubiri e Mmengo bw’abadde atikkula Amakula okuva mu bannakyagwe ku Lwokuna.
Mu nteekateeka eno eggombolola ya Mituba 6 Kasawo be baleese Amakula nga bakulembeddwamu omwami wa Kabaka akulembera eggombolola eno, Hajji Sulaiman Teffe Lumwenyo.
Omuk. Robert Ssewava bano abafalaasidde banayuganda buli obumu okulwanyisa enguzi n’obulyake obukude ejjembe obuvunaanyizibwabwa nga mu kino eggwanga lwe lijja okukulaakulana.
Mu ngeri yeemu akubirizza abaami ba Ssaabasajja okuteekawo n’okunyweza enkolagana n’abakulembeze mu gavumenti eyaawakati mu bintu gye baweereza nga mu kino lwe bajja okusobola okutuusa obuweereza obulungi eri abantu n’okukulaakulanya ebitundu.